Crested Cranes erumbye cameroon

Oct 31, 2023

LEERO, ttiimu y'eggwanga ey'omupiira gw'abakazi eya Crested Cranes ekomawo mu nsiike okudding’ana ne Cameroon mu z’okusunsulamu abalizannya mu Olympics omwaka ogujja e Bufalansa.

NewVision Reporter
@NewVision

Mu FIFA Women Olympic Qualifiers;
Cameroon - Uganda, 1:00
LEERO, ttiimu y'eggwanga ey'omupiira gw'abakazi eya Crested Cranes ekomawo mu nsiike okudding’ana ne Cameroon mu z’okusunsulamu abalizannya mu Olympics omwaka ogujja e Bufalansa.
Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, Crested Cranes yakubye Cameroon (2-0) ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru mu nsiike eyasoose ku mutendera ogwokubiri mu z’okusunsulamu empaka zino. Leero lwe badding’ana ku kisaawe kya Stade de la Reunification mu kibuga Douala ekya Cameroon.
Uganda yatuuse Lwamukaaga era omutendesi waayo ow’ekiseera, Charles Ayiekho, yasabye abazannyi okwekkiririzaamu nti basobola okukuba Cameroon wadde nga ttiimu ya linnya. Yabasabye okwongeramu amaanyi balwanirire obuwanguzi obwasoose beesogge omutendera oguddako.
Kapiteeni wa ttiimu eno, Fauzia Najjemba yasuubizza Bannayuganda okudda n’obuwanguzi n’agamba nti bagenda kulwana bawandulemu Cameroon omwayo.
“Ttiimu ezisinga zijja zitunyoomye olw’emibiri gyaffe emitono wabula ffe olulimi tumanyi lwa ku kisaawe, twogeza mupiira era mmaze okuduumira bannange tulumbe Cameroon,” Najjemba bwe yategeezezza.
Okuyitawo, Uganda yeetaaga maliri oba okwewala okukubwa ggoolo ezisukka ebbiri nga teteebyemu. Anaayitamu, waakusisinkana n'anaayitawo wakati wa Ethiopia ne Nigeria, abaakola amaliri (1-1) mu nsiike eyasooka mu kibuga Addis Ababa. Badding’ana leero e Nigeria.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});