Bannamawulire abasaka ag’emizannyo balonze musaayimuto Joseph Sebatindira omuzannyi wa ttena ey’oku mmeeza ku buzannyi bwa October bwe yawangudde ekikopo mu mutendera gw’abali wansi w’emyaka 11 mu mpaka z’ensi yonna eza World Table Tennis Youth Contenders ezaabadde mu Misiri.
Yazimazeeko nga takubiddwa era yamezze ttiimu ya rugby ey’abakyala ey’eggwanga eyakutte ekyokusatu mu mpaka za Afrika e Tunisia ku bubonero 235-220.
Ono era yawangudde era USPA eky’omuzannyi eyasinze okukola obulungi mu October mu bali wansi w’emyaka 21. Aba USPA era baalonze ttiimu ya Rugby Sevens (ey’abasajja ey’abazannyi musanvu) ku buzannyi bwa September bwe yakutte ekyokusatu mu mpaka za Afrika ezaabadde e Zimbabwe.
Mu ngeri y’emu, pulezidenti wa USPA, Moses Al Seyed Lubega alangiridde nti ttabamiruka w’ekibiina ekyo agenda kutuuzibwa nga 25 omwezi guno.