Ekisaawe kya Nakivubo kicamudde minisita Ogwang

Minisita w'ebyemizannyo Patrick Ogwang atuuse ku kisaawe kya Nakivubo n'afuna akaseko ku matama.

Minisita Ogwang, Eng. Moses Magogo n'abakungu abalala nga bazze okulambula ekisaawe
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

Minisita w'ebyemizannyo Patrick Ogwang atuuse ku kisaawe kya Nakivubo n'afuna akaseko ku matama.

Minisita ategeezezza nti bulijjo awulira ebigambo eby'ogerwa ku kisaawe kino naye bwatuseewo yewuunyizza munnayuganda okuzimba ekisaawe ekiri ku mutindo gw'ensi yonna.

Abakungu nga balambula ekisaawe

Abakungu nga balambula ekisaawe

Mungeri yeemu minisita ategeezezza nti Pulezidenti Mueveni ajja kujja aggulewo ekisaawe kino ku nkomerero y'omwezi guno.

Omugagga Ham Kiggundu ng'asimula omupiira

Omugagga Ham Kiggundu ng'asimula omupiira

Ye President wa FUFA Eng. Moses Magogo ategeezezza nti bazze n'abakugu okwongera okwekenneenya ekisaawe kino naye bonna bavuddewo nga bamativu olw'omutindo gwebasanzeewo