Omugagga wa ManU ayongedde okukwata olweyo

Nov 21, 2023

Yasoose kugoba Richard Arnold akulira emirimu mu ttiimu eno era ono waakwabulira ttiimu eno ku nkomerero y’omwaka guno.

NewVision Reporter
@NewVision

Mu kaweefube w’okwongera okuggumiza ttiimu, omugagga wa ManU omupya Jim Ratcliffe waakwongera okukola enkyukakyuka mu ttiimu eno.

Essaawa yonna Ratcliffe waakulangirirwa ng’omu ku bannannyini ttiimu eno avunaanyizibwa ku by’omupiira era atandikiddewo okukola enkyukakyuka.

Yasoose kugoba Richard Arnold akulira emirimu mu ttiimu eno era ono waakwabulira ttiimu eno ku nkomerero y’omwaka guno.

Kigambibwa nti n’akulira okugula abazannyi John Murtough, naye ekyambe kimulinze. Murtough yalondebwa Ed Woodward mu September wa 2021 kyokka engeri gy’akuttemu eby’okugula abazannyi, tezzaamu maanyi.

Wano Ratcliffe w’asinzidde okumukwata ku nkoona. Ensonda zaategeezezza nti ebbaluwa egoba Murtough yawandiikiddwa dda ng’erinze kumukwasibwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});