Omubaka yeetondedde Harry Maguire
Nov 23, 2023
Omubaka Isaac Adongo bwe yali akubaganya ebirowoozo omwaka oguwedde ku mbalirira ya Ghana, yagerageranya omumyuka wa pulezidenti w’e Ghana, engeri Mahamudu Bawumia gy’akwatamu ebyenfuna by’eggwanga eryo ku mutindo omubi Maguire gwe yaliko ebiseera ebyo.

NewVision Reporter
@NewVision
HARRY Maguire, omuzibizi wa ManU ne Bungereza akkiriza okwetonda kw’omubaka wa palamentiu y’e Ghana n’asuubiza okumwaniriza n’essanyu bw’aliba agenze ku Old Trafford.
Omubaka Isaac Adongo bwe yali akubaganya ebirowoozo omwaka oguwedde ku mbalirira ya Ghana, yagerageranya omumyuka wa pulezidenti w’e Ghana, engeri Mahamudu Bawumia gy’akwatamu ebyenfuna by’eggwanga eryo ku mutindo omubi Maguire gwe yaliko ebiseera ebyo.
Ku Lwokubiri, Adongo yagambye ayagala kutereezaamu bwe yawanye Maguire ng’omuzannyi eyeerwanako era ayigira ku nsobi ze nga kati ManU kw’etambulira.
“Bawumia, ye Maguire waffe gwetulina mu Ghana kuba tuzimba azimbulula,” Adongo bwe yagamba era akatambi ke katambula nnyo ku mikutu egy’enjawulo.
Bwe yabadde ayogera n’omukutu gwa BBC, Adongo yagambye nti “Nnakozesa ffoomu ya Maguire eya 2021/22 okulaga obutali bumativu bwange n’engeri ebyenfuna bya Ghana gye bisebengerera wabula oluvannyuma lw’okudda engulu, nsaba Maguire ansonyiwe.”
No Comment