Makerere ewangudde empaka z'okuwuga mu mizannyo gya AUUS 2023
Dec 20, 2023
MAKERERE erangiriddwa ku bwa kyampiyoni bw’okuwuga oluvannyuma lw’okufutizza ttiimu za yunivasite 10 mizannyo gya AUUS egimaze ennaku nnya (4) nga giyindira ku Uganda Christian University e Mukono.

NewVision Reporter
@NewVision
AUUS GAMES 2023
MAKERERE erangiriddwa ku bwa kyampiyoni bw’okuwuga oluvannyuma lw’okufutizza ttiimu za yunivasite 10 mizannyo gya AUUS egimaze ennaku nnya (4) nga giyindira ku Uganda Christian University e Mukono.
Makerere ye yadduukiridde abategesi aba UCU n’ekidiba abayizi mwe bawugidde, wabula n’egaana yunivasite endala okugijjoogera ewaayo bwe yakukumbye omugatte gwa midaali 1211 nga kuliko egy’abawala 641 n’abasajja 570.
Jacob Mugisha, Priscilla Erapu, Charity Nannungi, Ruth Zulaika Nabudo, Grace Nakalyowa Kirabo, Dorah Nankunda, Hannat Nakimuli n’abalala be baafunidde Makerere zaabu mu mitendera egy’enjawulo.
Ndejje University ababadde bakyampiyoni b’okuwuga sizoni ewedde 2019, omulundi guno bakutte kyakusatu bwe baakung’aanyizza omugatte gwa midaali 626 nga gyonna gya basajja bokka.
Emizannyo gino gikomekkerezebwa mu butongole ku Lwokuna (December 21, 2023) nga yunivasite 23 ze zeetabye mu mizannyo 17 egivuganyiziddwaako.
EKIBALO KY’EMIDAALI
ABAKAZI
Makerere 641
MUBS 342
UCU 26
ABASAJJA
Ndejje 626
Makerere 570
MUBS 376
Kampala U. 58
UCU 28
Nkumba 22
OMUGATTE BULI YUNIVASITE
Makerere 1211
MUBS 718
Ndejje 626
UCU 54
Kampala U. 58
Nkumba 22
No Comment