VIPERS SC egobye omutendesi Omubrazil Leo Neiva lwa kugaba nnotisi enfu
Dec 25, 2023
VIPERS SC abalina ekikopo kya liigi y’omupiira eya Star Times Uganda Premier League bagobye abadde omutendesi waabwe Leonard Martins Neiva enzaalwa za Brazil lwa kwolesa mutindo gwa kiboggwe.

NewVision Reporter
@NewVision
VIPERS SC abalina ekikopo kya liigi y’omupiira eya Star Times Uganda Premier League bagobye abadde omutendesi waabwe Leonard Martins Neiva enzaalwa za Brazil lwa kwolesa mutindo gwa kiboggwe.
Ono okugobwa kiddiridde ku Lwokutaano Vipers SC okukubwa BUL FC ku kisaawe kya St. Mary’s e Kitende ggoolo (3-2) ekyaviirako ne Lawrence Mulindwa nnanyini ttiimu okwekandagga n’ava ku kisaawe ng’omupiira tegunaggwa olw’obusungu.
Eggulo Ssande (December 24, 2023), abakungu ba Vipers SC baafulumizza ekiwandiiko ekigoba Neiva ekyamusanze nga yeetegekera okukuza ssekukkulu mu ssanyu kati alowooza bw’atikka bibye ku nnyonyi okuddayo e Brazil.
Neiva yeegatta ku Vipers SC mu July 2023, wabula teyatandika bulungi ttiimu bwe yawandulwa Jwaneng Galaxy FC eya Botswana mu mpaka za CAF Champions League ku mugatte gwa ggoolo 3-2 oluvannyuma lw’okukubwa 2-0 e Gaborone ate e Kitende mu gw’okudding’ana baawangula 2-1 naye nga tezibayisaawo.
Neiva yazzaako empaka z’ekikopo kya FUFA Super 8 wabula Vipers SC yawandukira ku ‘quarter’ bwe yakubwa BUL FC ggoolo (1-0) ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.
Mu liigi y’eggwanga eya Star Times Uganda Premier League, Vipers SC mu mipiira 12 gye baakazannya bali mu kifo kyakubiri n’obubonero 24 emabega wa BUL FC abakulembedde n’obubonero 29.
“Tusazeewo okusazaamu endagaano y’omutendesi Leonard Martins Neiva, tumwebaza olw’ebbanga ly’abadde naffe n’emirimu gy’akoledde ttiimu ate tumwagaliza obulamu obulungi yonna gy’alaga,” ekiwandiiko bwe kisoma okuva mu Vipers SC.
No Comment