Mbabazi asuddewo Arua Hill FC ne yeegatta ku Vipers SC
Jan 02, 2024
BAKYAMPIYONI ba liigi y’eggwanga eya Star Times Uganda Premier League sizoni ewedde aba Vipers SC bapasudde abadde omutendesi wa Arua Hill FC Charles Livingstone Mbabazi ajje abataase ku ttiimu yaabwe esereba buli lukya.

NewVision Reporter
@NewVision
BAKYAMPIYONI ba liigi y’eggwanga eya Star Times Uganda Premier League sizoni ewedde aba Vipers SC bapasudde abadde omutendesi wa Arua Hill FC Charles Livingstone Mbabazi ajje abataase ku ttiimu yaabwe esereba buli lukya.
Eggulo (January 1, 2024) Mbabazi lwe yatadde omukono gwa ndagaano ya myaka ebiri nga baamukwasizza obuvunaanyizibwa obusookerwako kwe kulaba nga ttiimu yeddiza ekikopo kya sizoni eno.
Ono azze mu bigere bya Leonard Martins Neiva enzaalwa za Brazil eyakwatibwa ku nkoona wiiki ewedde (December 24, 2023) lwa kwolesa mutindo gwa kiboggwe.
Oluvannyuma lw’okumwanjula ku kisaawe kya St. Mary’s Stadium e Kitende, mu bubaka bwa Vipers SC baategeezezza “Tulina essanyu lingi okwaniriza Mbabazi ng’omutendesi waffe omuggya, tumusuubiramu bingi naddala okuzza ttiimu yaffe engulu,” ekiwandiiko bwe kyakakasizza.
Mbababazi 43, sizoni ebbiri emabega y’abadde mu mitambo gya Arua Hill FC mu liigi y’emu eya Star Times Uganda Premier League wabula yagisuddewo wiiki ewedde olw’obutakkaanya n’entalo eziri mu ttiimu eyo.
Waggyidde nga Vipers SC yaakakubwa emipiira ebiri egy’omuddiring’anwa okuli; BUL FC okubalumba e Kitende n’ebakubirayo (3-2) ne Express FC yabazze mu biwundu (2-0) ku wiikendi e Wankulukuku.
Kino kitadde Vipers SC mu kifo kyakuna n’obubonero 24 mu mipiira 13 emabega wa Maroons FC (25), Kitara FC (26) ne BUL FC (32) abakulembedde.
No Comment