Munnayuganda Kiplagat omuddusi w'embiro empanvu bamufumise ebiso n'afiira e Kenya

Jan 02, 2024

ENCUKWE esaanikidde bannabyamizannyo mu buvanjuba bwa Afrika, amassekkati n’ensi yonna olwa munnayuganda omuddusi w’embiro empavu Benjamin Kiplagat okufumitibwa ebiso mu kifuba ne mubulago n’afiiraawo mu ntiisa e Kenya.

NewVision Reporter
@NewVision

ENCUKWE esaanikidde bannabyamizannyo mu buvanjuba bwa Afrika, amassekkati n’ensi yonna olwa munnayuganda omuddusi w’embiro empavu Benjamin Kiplagat okufumitibwa ebiso mu kifuba ne mubulago n’afiiraawo mu ntiisa e Kenya.

Kiplangat 34, ku makya agaakesezza Ssande (December 31, 2023) yasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi ng’afiiridde ku siteeringi y’emmotoka ye kuluguudo lwa Eldoret oludda mu maka gy’abadde asula ku kyalo Kimumu mu ssaza lya Uasin Gishu mu kibuga Nairobi.

Okusinziira ku mudduumizi wa Police mu Ggombolola ya Moiben e Kenya Stephen Okal yannyonnyodde nti abaserikale bwe batuukidde mu kifo awattiddwa Kiplangat ku ssaawa 11 ez’oku makya ku Ssande;

“Kiteeberezebwa nti waliwo pikipiki y’abantu abasoose okwekiika emmotoka ya Kimplangat era eno twasanze yagitomedde, kyokka kirabika baamusinzizza amaanyi ne bamufumita ekiso mu bulago ne mukifuba ne bamuleka ng’aggwaamu omusaayi okutuusa lwe yafudde, Poliisi ekyanoonyereza,” Okal bwe yannyonnyodde okusinziira ku kiwandiiko kya Police okuva e Kenya.

Kiplangat yatandika okumanyika mu 2006 bwe yawangula emisinde gimubunabyalo gy’ensi yonna egy’abato (World Junior Cross Country Championship), yeetaba mu misinde gya Olympics 2008 e Beijing, yakiikirira eggwanga mu muizannyo gya London 2012 ne Rio de Janeiro 2015, yavuganya mu Commonwealth mu Delhi 2014.

Yawangulira Uganda omudaali gw’ekikomo mu mbiro za mita 3000 mu misinde gya ‘World Junior Championship), era arina ogw’ekikomo omulala mu Africa Senior Championship.

Abadde adduka emisinde gy’okubuuka obusenge nga bw’ogwa mu mazzi (Steeplechase) era mu 2019 yavuganyizza mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletic Steeplechase mu kibuga Doha ekya Qatar n’amalira mu kifo kya 18.

Abaddeko mu mpaka okuli; Samsung Diamond League Shangai China, Laisanne Athleticism mu Switzerland, mu mizannyo gya Hengelo Fanny Blankers-Koen mu Buddaaki ndala nnyingi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});