Aba Kyabakadde FC bamezze Ddundu FC ne basitukira mu za 'Buganda ku Ntikko'
Jan 04, 2024
ABAWAGIZI ba Kyabakadde FC mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono, bakyajaganya olwa ttiimu yabwe okuwangula Ddundu FC mu mpaka z’omupiira eza Buganda ku Ntikko tournament.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAWAGIZI ba Kyabakadde FC mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono, bakyajaganya olwa ttiimu yaabwe okuwangula Ddundu FC mu mpaka z’omupiira eza Buganda ku Ntikko tournament.
Fayinolo eno eyanumidde abalabi nga bamalako omwaka n’okuteeka abamu ku bunkenke, Kyabakadde FC ya mezze Ddundu ku penati 5- 4 ku kisaawe ky’e Kyabakadde. Bawereddwa ekirabo kya pikipiki empya ekole ssente ate abakutte eky’okubiri bafunye sseddume w’ente
tiimu ya Ddundu yeyasoose okugwefuga omupiira, ng’eyita mu muzannyi Cyrus Kizoto mu kitundu ekisooka yatebye ggoolo, wabula mu kitundu eky’okubiri Kyabakadde nayo yakomyewo nga yeeterezezza ne bateba eyekyenkanye.
Ronald Kalungi (akutte omuzindaalo) ne Sam Ssekajjugo (amuddiridde ku (ddyo) wamu n'omuyimbi Julie Heartbeat nga bakwasa aba Kyabakadde FC pikipiki gye baawangudde mu mpaka za Buganda ku ntikko.
waliwo n’abazannyi abamu abaccamudde abalabi olw’obubaddi bwe bayolesezza mu kuccanga akapiira ne batuuka n’okugerageeranya kw’abbo abaguccangira mu liigi ya Bungereza (Primer league).
Empaka zino ezetabiddwamu emiruka gyonna egikola eggombola y’e Kyampisi era nga zimazze emyezi 4 nga ziyinda, zawomeddwamu omutwe Owek. Sam Ssekajjugo omwami wa Kabaka atwala esaaza lya Rhinelands mu Bulaaya era bba w’omuyimbio Julie Heartbeat Ssekajjugo eyasubiddwa okwongera okutumbula ebitone by’abavubuka ng’ayita mu by’emizannyo.
Sam Ssekajugo (ow'okubiri Ku Kkono) Omwami Wa Kabaka Atwala Essaza Lya Lya Rhineland Ne Mukyala We Omuyimbi Jullie Heartbeat Nga Balambuza Ronald Kalungi (asooka Ku Kkono) N'abagenyi Abalala Olusuku lwabwe
Ronald Kalungi eyakiridde Katiikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kuggalawo empaka zino yagambye nti Buganda yaakwongera okutumbula ebyemizannyo kubanga tebikoma ku kukuuma mibiri nga miramu naye n’okuvaamu ensimbi.
Ng’omupiira tegunabaawo, Ronald Kalungi yasoose kulambula mirimu egikolebwa Oweekitiibwa Ssekajugo omuli olusuku olw’omulembe ne ku ssomero eriri mu kitundu era Ssekajugo ly’alinako akakwate.
Ono yasiimye emirimu Ssekajugo gy’akola naddala okuyigiriza ababuka ennima ey’omulembe nga bayigira ku lusuku lwe era n’akakasa nti enkola eno bw’anagitwaala mu maaso Bannakyaggwe ne Bannayuganda bonna bajja kugifunamu byansusso.
Sam Ssekajugo (ow'okusatu Ku Kkono), Ronald Kalungi (mu Ttaayi),. Omuyimbi Jullie Heart Beat (ow'okuna Ku Ddyo) N'abagenyi abalala
No Comment