Kane asabye abazannyi ba Bayern 'okuzuuka'

Feb 11, 2024

Kiddiridde Leverkusen okubatimpula ggoolo 3-0 ekyabalese nga bali mabega wa ttiimu eyo mu kyokubiri obubonero butaano.

NewVision Reporter
@NewVision

Omuteebi wa Bayern, Harry Kane asabye abazannyi banne okwekuba mu kifuba beekung’aanye bwe baba baagala okuwangula ekikopo kya sizoni eno.

Kiddiridde Leverkusen okubatimpula ggoolo 3-0 ekyabalese nga bali mabega wa ttiimu eyo mu kyokubiri obubonero butaano.

Kane, omu ku baasongeddwaamu olunwe ng’abaasinze okwolesa omutindo omubi, agambye nti olutalo lw’ekikopo terunnaggwa era balina okulwana beekung’aanye baddemu okuwangula emipiira.

Ttiimu ya Xabi Alonso (Leverkusen) yabasinze buli kimu era obwedda bagoba bisiikirize. Sizoni eno, Leverkusen yeefunidde Bayern nga ne mu nsiike eyasooka ku Allianz Arena amaka ga Bayern, Leverkusne yaggyayo akabonero.

Sizoni ewedde, Bayern ekikopo kya liigi yakiwangulira ku lunaku olusembayo bwe yawangula ensiike yaayo ate Dortmund bwe baali ku mbiranye n’egwa maliri.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});