Abazannyi 30 abasinze okuzannya omupiira mu nsi yonna

Nov 01, 2023

MU kugaba Ballon d'Or y’omwaka guno eyatwaliddwa Lionel Messi, ekibiina ekikulembera omupiira mu nsi yonna ekya FIFA, kyafulumizza olukalala lwa bazannyi 30 abaasinze okuguzannya mu 2023 era be bano.

NewVision Reporter
@NewVision

Paris, Bufalansa

MU kugaba Ballon d'Or y’omwaka guno eyatwaliddwa Lionel Messi, ekibiina ekikulembera omupiira mu nsi yonna ekya FIFA, kyafulumizza olukalala lwa bazannyi 30 abaasinze okuguzannya mu 2023 era be bano.

Eno y’ensegeka yaabwe okuva ku wa 30 okukka okutuusa ku yasinze.

30: Ruben Dias (Manchester City Portugal), Ye yasinga abazibizi ba ManCity bwe yali ewangula ebikopo bisatu (3) sizoni ewedde ate nga ne sizoni eno akyakola bulungi.

29: Martin Odegaard (Arsenal)

Odegaard ye kapiteeni wa Arsenal. Yateeba ggoolo 15 n’akola ennyamba mu Arsenal sizoni ewedde.

28: Randal Kolo Muani (PSG)

Y’omu ku bazannyi Bufalansa b’erinamu essuubi. Yateeba ggoolo 14 sizoni ewedde ng’ali mu kiraabu ya Frankfurt ayali tekola bulungi n’azannya bulungi ne mu World Cup.

27: Nicolo Barella (Inter)

Ono ye yali omutima gw’amakkati ga Inter Millan eyazannya obulungi ennyi sizoni ewedde eyatuuka ne ku fayinolo za Champions League.

26: Jamal Musiala (Bayern Munich)

Musaayimuto Musiala yayongera okwaka sizoni ewedde, bwe yateeba ggoolo 12 n’akola n’ennyamba 10 mu kiraabu ye eya Bayern Munich ne bawangula ekikopo kya liigi.

25: Josko Gvardiol (Man City)

Ye muzannyi ayogerwako ng’omu ku baasinga okuzannya obulungi mu Croatia ne mu kiraabe ya RB Leipzig mu sizoni ya 2022-23 ekyavaako ne Man City okumugula.

24: Bukayo Saka (Arsenal)

Musaayimuto ono yayambako Arsenal okukwata ekyokubiri mu sizoni ewedde, bwe yateeba ggoolo 14 n’ennyamba 11 mu Premier League.

23: Andre Onana (Manchester United)

Onana yakwata emipiira mu ngeri eteri ya bulijjo bwe yali azannyira Inter sizoni ewedde ekyabayamba n’okutuuka ku fayinolo ya Champions League.

22: Kim Min-Jae (Bayern Munich)

Enzibira ye, y’ensonga lwaki Napoli yatuuka ku bingi sizoni eyo, mwe yatwalira n’ekikopo kya liigi kye baali bamaze emyaka n’ebisiiba nga tebakiwangula.

21: Antoine Griezmann (Atletico Madrid)

Griezmann yeetaba mu ggoolo 31 aza La Liga sizoni ewedde.

20: Lautaro Martinez (Inter)

Omu ku bawanguzi b’ekikopo kya World Cup era eyazannya obulungi mu kulinnyisa omutindo gwa Inter sizoni ewedde.

19: Harry Kane (Bayern Munich)

Nnamba 9 wa Bungereza ono yateeba ggoolo za Premier League 30 sizoni ewedde.

18: Jude Bellingham (Real Madrid)

Bellingham ayaakaweza emyaka 20 ye muwuwuttanyi wa Dortmund eyasinga okucanga akapiira sizoni ewedde mwe baalemererwa awatono okuwangula ekikopo kya liigi ya Bundesliga, kyokka ng’akyalabise bulungi ddala okuva lwe yeegatta ku Madrid e Spain.

17: Khvicha Kvaratskhelia (Napoli)

Kvaratskhelia y’omu ku bakuba ka nnamba ssatu (3) abaasinga okulabika obulungi mu sizoni ya 2022-23 mu Bulaaya wonna.

Yayambako Napoli okuwangula ekikopo kya liigi y’e Yitale ekya Scudetto kye yali emaze emyaka 33 nga tekiwangula. Awamu yeetaba mu ggoolo 22 eza liigi.

16: Karim Benzema (Al-Ittihad)

Benzema yateeba ggoolo 19 mu mipiira gya La Liga 24, omuzannyi ow’emyaka 35! Ssinga teyalwalalwala, yandisinzeewo.

15: Emi Martinez (Aston Villa)

Ye goolo kiipa eyawangula World Cup era ye goolo kiipa eyasinga mu World Cup.

14: Ilkay Gundogan (Barcelona)

Ono yayolesa omutindo ogwa waggulu ogwatuusa Man City okuwangula ebikopo bisatu. Ku myaka 33, ne mu Barcelona gye yalaze era ayaka.

13: Yassine Bounou (Al-Hilal)

Omuzannyi wa Morocco yeewuunyisa ensi yonna mu mpaka za World Cup 2022, ne batuuka ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo ate nga ne mu Sevilla be baawangula Europa.

12: Robert Lewandowski (Barcelona)

Yateeba ggoolo 23 eza liigi n’ayamba Barca okuwangula La Liga mu myaka esatu.

11: Mohamed Salah (Liverpool)

Salah yateebera Liverpool ggoolo 30 n’ayamba okukuumira Liverpool mu kifo kya Europa.

10: Luka Modric (Real Madrid)

Modric yakola bulungi mu Champions League ne mu World Cup.

9: Bernardo Silva (Man City)

Y’omu ku nsonga lwaki Man City yawangula ebikopo bisatu(3).

8: Victor Osimhen (Napoli)

Osimhen yateeba ggoolo 26 mu Serie A n’ennyamba 4 ne beetikka ekikopo kya liigi. Yagattako ggoolo endala ttaano mu mipiira etaano gye yatandika agya Champions League.

7: Julian Alvarez (Man City)

Y’omu ku bassita ba Argentina, abaagiwanguza Wold Cup ate n’awangula n’ebikopo bisatu ku Man City.

6: Vinicius Jr (Real Madrid)

Vinicius yakuba omugatte gwa ggoolo 20 n’akola n’ennyamba 20 mu mipiira gye yazannyira kiraabu ne ku ggwanga.

5:Rodri (Man City)

Ono ye nnamba mukaaga, oluusi eyeekyusa n’alumba ng’ogamba nti nnamba 10. Ate olulala n’akuba ekinnya nga bw’ayambako n’abazibizi era ayogerwako ng’omuzannyi eyasinga okubeera ow’omugaso ku Man City sizoni ewedde.

4: Kevin De Bruyne (Man City)

De Bruyne gwe musingi Haaland kwe yasinziira okukola obulungi. Era alina omukono munene mu bikopo ebisatu bye baawangula sizoni ewedde.

3: Kylian Mbappe (PSG)

Ajjukirwa nnyo olw’okuteeba ggoolo ssatu ku fayinolo ya World Cup nga ne ku PSG yateeba ggoolo 29 ne bawangula Ligue 1.

2: Erling Haaland (Man City)

Kino kyafuuka kyuma kya Goolo oluvannyuma lw’okukuba ggoolo 52 mu mpaka zonna.

  1. Lionel Messi (Inter Miami)

Messi ye yasinze era eyawangudde engule eno omulundi ogw’omunaana, n’ayongera okuleka C. Ronaldo eyakoma ku ngule 5.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});