ABAZANNYI b'Omupiira abato basabiddwa obutatunuulira ssente nga bazimba ebitone byabwe wabula amaanyi bagasse mu kutendekebwa n’okunnyikiza obukodyo abatendesi bwe babasigamu.
Amagezi gaabaweereddwa Yusuf Kyeyune ‘Chuni’, eyakulirako ebyekikugu mu SC Villa, ssentebe wa w’omupiira mu ligyoni ya Kampala, n’obuwi bw’amagezi mu FUFA y’omugenzi Denis Obua. Yabadde ku masomero ga Caring Hearts e Kaggala mu Wakiso ku Lwokuna mu mupiira gwa liigi y’abayizi baalyo eyitibwa ‘Caring Hearts Premier League’.
Chuni ng'ali n'abaana
Chuni yagambye nti Omupiira muzannyo gwa bugumiikiriza ng’omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kukuza kitone. Yabalabudde ne ku masanyu nti abasambi okumalira obudde mu bbaala n’okuyingirira ebyobukaba bibalemesa okutuuka ku mutindo.