TTIIMU ya Wakiso Giants mu liigi Star Times Uganda Premiar League, bakansizza Steven Bengo ne Tony Mawejje nga abatendesi baabwe sizoni ejja 2024/2025.
Kyaddiridde abadde omutendesi waabwe John ‘Ayala’ Luyinda okusuulawo ttawulo gye buvuddeko. Baaweereddwa endagaano ya myaka esatu buli omu.
Titus Ssematimba ne Marvin Nyanzi (baagenze mu Kitara FC) ate Kenneth Kimera yeegasse ku Vipers SC wamu n’abalala.
Guno mulundi gwakubiri nga Bengo okutendekako Wakiso Giants oluvannyuma lwa 2019 bwe yaleetebwa ng’ow’ekiseera oluvannyuma lwa Kefa Kisala okugisuulawo mu kiseera ekyo.