Uganda ekutte kyakubiri mu z'amasomero eza Pan African Robotics e Senegal
Aug 03, 2024
UGANDA ekutte kifo kyakubiri mu mpaka za Africa eza Pan African Robotics Competition eyayindidde mu kibuga Dakar ekya Senegal.

NewVision Reporter
@NewVision
UGANDA ekutte kifo kyakubiri mu mpaka za Africa eza Pan African Robtics Competition eyayindidde mu kibuga Dakar ekya Senegal.
Empaka zino ezaggyiddwaako akawuuwo nga 24 ne ziggalwawo nga 28 omwezi oguwedde.
Uganda yakiikiriddwa bamusaayimuto abali wansi w'emyaka 12 okuva mu masomero agenjawulo okuli; Africans School of Innovation Science and Technology Young Engineers, Heritage International School n'amalala.
Abamu ku beetabye mu mpaka zino nga basala keeki okwekulisa
Shanice Asante okuva ku Heritage International School, Donald Buchanan okuva ku Aghakharn International school ne Roshan Karoobi okuva ku The Stoneridge School bebakyikiridde Uganda era nebajiretera obuwanguzi.
Empaka zino zeetabwamu ensi 25 okuva ku lukalu lwa Africa yonna okuva mu masomero 94 agenjawulo.
Mu April w'omwaka ogujja 2025 abawanguzi baakwetaba mu mpaaka zaakamalirizo ezigenda okuyindira mu America ezituumiddwa Vex Robotics World Championships.
Abawanguzi nga balya ekimere mu maka ga Donald Buchanan agasangibwa e Munyonyo
Ye omutendesi waabwe Monica Arinaitwe yagambye nti ekyabawanguzza kwe kubeera nti abaana baabwe babatendeka bulungi okukoleganira awamu, okulemerako, saako n'okwekkirizaamu.
Ye omu ku bayizi Donald Buchanan yagambye yadde baafunamu okusoomoozebwa kw'olulimi nga bo boogera Luzungu so nga gye bakyadde boogera Lufaransa, tekyabalobedde kufuna buwanguzi kyokka bandikutte ekifo kya nnamba emu singa si ekyo ne ppereketya w'omusana.
No Comment