Abazannyi abaasambye akaggi ku Cranes

Oct 06, 2024

ABAYIZI balabuddwa okwewala emize gyonna egiyinza okubaviirako okukwatibwa akawuka ka mukenenya nebasabibwa kw’ossa n’endwadde endala ez’ekikaba wabula nebasabibwa banywerere ku mulamwa gw’okusoma okusobola okutuukiriza ebirooto byabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAYIZI balabuddwa okwewala emize gyonna egiyinza okubaviirako okukwatibwa akawuka ka mukenenya nebasabibwa kw’ossa n’endwadde endala ez’ekikaba wabula nebasabibwa banywerere ku mulamwa gw’okusoma okusobola okutuukiriza ebirooto byabwe.

Okulabula kuno kukoleddwa aba Rotary Club ye Kasangati bwebabadde benyigidde mu kusomesa abayizi b’essomero lya Wampeewo Ntakke Secondary School engeri y’okwetangiramu okukwatibwa endwadde ez’enjawulo wamu n’okubawa obujanjabi obutali bumu nga bali wamu ne bannamikago ab’enjawulo.

Dr. Gloria Kasozi nga y’akulira eby’obulamu mu Lotale eno yategezezza nti kya nnaku nti bakizudde nga abayizi abamu bakyalina ebibuuzo bingi ebikwata ku bulamu bwabwe kyokka nga tebanafuna kuddibwamu olw’abamu okutya okubuuza abasomesa kw’ossa n’abazadde baabwe.

Kyokka Dr. Kasozi akuutidde abayizi okwetangira embeera zonna eziyinza okubaviirako okukwatibwa endwadde z’ekikaba naddala akawuka akaleeta amukenenya n’abasaba okumanya ensonga enkulu lwaki bali mu masomero.

Alunngamizza ku abo abasangibwa n’akawuka kano n’ategeeza nti eno si y’ebeera enkomerero wabula bababudaabuda bulungi nebafuna obuyambi obwetaagisa naddala okubalambika ku ngeri y’okumiramu eddagala lyabwe.

Asabye abayizi obali mu masomero bulijjo okunywerera ku mpagi y’okwekuuma kubanga y’enkola esinga okwekakasibwa okwetangira okufuna obulwadde buno.

Dr. Kasozi awanjagidde abantu bonna abalina obusobozi obuduukirira abalala naddala ku by’obulamu mu masomero kubanga abayizi bangi bakyalina ebibuuzo bingi ebyetaaga okulunngamizibwa nga bayita mu nsiisira z’ebyobulamu ez’enjawulo.

Godfrey Yusufu Byamukama akulira eby’ensoma ku ssomero lya Wampeewo Ntakke Secondary School yasiimye nnyo aba lotale okuduukirira abayizi mu by’obulamu n’asaba n’abalala abalina obusobozi okubalabirako.

Ategezezza nti buli entekateeka nga zino lweziggya mu bayizi kibayambako okufuna amagezi ag’enjawulo agabayambako okwetangira endwadde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});