CRISTIANO Ronaldo omu ku bakyasinze likodi ez'enjawulo mu mupiira, ekikwa ky'obutawangula bikopo bya muzinzi mu Saudi Arabia kimulemeddeko.
Ku Lwomukaaga, Al-Nassr ya Ronaldo, yalemereddwa okuwangula Saudi Super Cup bwe baakubiddwa Al-Ahli ku peneti 5-3 oluvannyuma lw'eddakiika 120 okuggwa ggoolo 2-2.
Mu mupiira guno, Ronaldo ye yasoose okuteeba nga ggoolo yabadde ya peneti kyokka Franck Kessie yafunidde Al-Ahli ey'ekyenkanyi ng'ekitundu ekisooka kikomekkerezebwa.
Ggoolo ya Ronaldo, yabadde ya 100 mu mujoozi gwa Al-Nassr nga kino kyamufudde omuzannyi asoose okuteeba ggoolo 100 n'okudda waggulu mu kiraabu 4 ez'enjawulo. Kati alina ggoolo 939 omugatte ng'abuzaayo 61 okuweza 1,000.