ABAKUNGU ba URA FC basobeddwa oluvannyuma lw'okuleeta abazannyi abapya ne babulwa gye baggya layisinsi.
URA y'emu ku ttiimu ezitaakoze bulungi mu luzannya lwa liigi olusooka ng'eyagala kwongeramu bazannyi abapya b'egamba nti be bagenda okugibbulula mu buzibu kyokka beesanze ng'omuwendo gw'abazannyi 32, FUFA b'ewa buli ttiimu baagumalawo.
Mu mbeera eno, URA yasazeewo okwazika ku bazannyi esobole okufuna ebifo ebikalu ebayingizeemu kyokka wazzeewo kalumanywera ng'abamu ku bazannyi tebaagala kuvaawo.
Ensonda mu ttiimu eno zaalaze nti omutendesi waayo, Hussein Mbalangu yalagidde baggyewo Laban Tibiita, Nicholas Kabonge, Kabon Living, Shafik Lugolobi, Nelson Senkatuka, Abraham Tusubira, Amis Bwangani ne Faisal Matovu.
Mu bifo bino, Mbalangu ayagala bayingizeemu Moses Waiswa, Dissan Galiwango, Derrick Kakooza, Ismail Mugulusi n'abalala. Mu kaseera ng'ebula ennaku 5 akatale k'okukyusa abazannyi aka January kaggweeko, abazannyi bakyagaaniddewo nga bagamba baagala kusigala balwanire ennamba.
Mbalangu yategeezezza nti, ensonga zino bakama be bazikolako era mugumu nti bijja kutambula bulungi. Kigambibwa nti Senkatuka y'omu ku baagala okusigala alwanire ennamba. Yannyonnyodde nti omutendesi gwe yasikira yamalawo ebifo byonna ng'okwongeramu b'ayagala, balina kubaako be batoolako.
"Twafunye Waiswa era tugenda kumuteeka mu kifo kya Kabon Livingi eyakkiriza okugenda ku looni mu Kitara. Katonda yatuyambye okwanguyirwa okuzza Bruno Bunyaga ne Ismail Mugulusi kuba baaliko mu ttiimu eno," Mbalangu bw'agamba.
Ekifo kya Shafik Lugolobi eyagenze mu Express, baakitaddemu Bright Joseph Vuni gwe baali baasindika ku bwazike mu UPPC ku ntandikwa ya sizoni eno.
Eggulo, URA yattunse ne Blacks Power mu Stanbic Uganda Cup ku luzannya lwa ttiimu 32.