Ebyemizannyo

Bamusaayimuto ba Uganda 10 boolekedde Kenya mu mpaka za Gymnastics

Bamusaayimuto 10 abomuzannyo gwa gymnastics basiibuddwa okwolekera ekibuga Nairobi e Kenya gyebagenda okwetaba mu mpaka za Junior women’s artistic gymnastics eziri ku mutendera gwa Africa.

Bamusaayimuto nga basimbula okugenda e Kenya
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Bamusaayimuto 10 abomuzannyo gwa gymnastics basiibuddwa okwolekera ekibuga Nairobi e Kenya gyebagenda okwetaba mu mpaka za Junior women’s artistic gymnastics eziri ku mutendera gwa Africa.
Bamusaayimuto bano abali wakati w'emyaka 5 ne 12 baakwetaba mu mizannyo egiri mu mitendera okuva ku gusooka okutuuka ku mutendera ogwokuna.
Abasiibuddwa kuliko Maya Denise, Elsie Matanda, Shanice Nakayima Adora Mirembe ne Neema Mpaka. Abalala kuliko Zion Kembabazi, Lin Yu Han ne Aleru Aloyo.
Bano basiibuddwa amyuka ssaabawandiisi wa NCS Milton Chebet ku mukolo ogubadde ku kakiiko akalondoola emizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports (NCS) e Lugogo nga ali wamu ne president womuzannyo gwa gymnastics mu ggwanga Harriet Ayaa.
Ayaa atenderezza bamusaayimuto olwobuvumu bwebazze boolesa mu kutendekwa ekimuwa essuubi nti baakukola bulungi mu mpaka gyebagenda.

Bamusaayimuto nga basimbula okugenda e Kenya

Bamusaayimuto nga basimbula okugenda e Kenya


Milton chebet amyuka ssaabawandiisi wa NCS asibiridde bamusaayimuto entanda nga bagenda okukiikirira eggwanga nabasaba okukuuma empisa nokuwanika bendera yeggwanga mu kitiibwa. 
Chebet wabula asinzidde ku mukolo guno naasaba ekibiina kya Gymnastics okukolaganira wamu namassomero okusobola okutumbuula omuzannyo guno mu ba musaayimuto.
Omutendesi Mustafa Yiga wamu nakiikiridde abazadde Amaguru Clara bebagenda okutambula nebamusaayimuto bano awamu nabam uku bazadde baabwe.
Charis kemigisha eyalondeddwa okuduumira banne asuubiza okukomawo nobuwanguzi olwengeri gyebamaze ebbanga nga beetekateeka.
Empaka zaakwetabwamu amawanga mukaaga okuli uganda, kenya, Tanzania, Zimbabwe ne Rwanda.
Empaka zaakubaawo nga 28 omwezi guno nga bamusaayimuto baakuvuganya mu mizannyo okuli vault, floor, beam ne bars