Ebyemizannyo

Musaayimuto yeepikira kuwangula za NRC

KAFULU  mu kuvuga emmotoka z’empaka  musaayi muto Kevin Beboto ayingizzaawo emmotoka empya gye yesunga okuwanguliramu engule eya NRC2.

Kevin Bebeto
By: Procopios Lumu, Journalists @New Vision

KAFULU  mu kuvuga emmotoka z’empaka  musaayi muto Kevin Bebeto ayingizzaawo emmotoka empya gye yesunga okuwanguliramu engule eya NRC2.
 Kevin Bebeto  owa  Simba Rally team  ow’emyka 19  abadde avuga emmotoka ekika kya  Subaru N10 era nga ono yasuumusiddwa okuva mu kibinja ky’abakyakayiga.
 Omwaka guno  Bebeto agamba nti ayagala ngule ya NRC kyokka agamba nti  abadde tabosobola kukikola na mmotoa nnafu.

Subaru N10 gy'abadde avuga

Subaru N10 gy'abadde avuga


Bebeto atutegeezezza nti  taate  we  Kaka Papu nga ono naye yaliko kafulu mu muzannyo guno yamugulidde emmotoka empya ekika kya  Mitshubishi Evo 10 okuva mu ggwanga lya  Kenya.
Bebeto asiimye bakadde be abamugulidde ekyuma ekipya okuli maama we ne taata we saaako  baganda be okuli Kuku Ranjit,maama we n’abalala.
Ku myaka 19 gyokka gyalina  Bebeto agamba nti talina muvuzi yenna gw’atya  wabula  ono yegomba  abavuzi okuli  Ponsiano Lwakataka ne Yasin Nasser  ng’ayagala  kuvugako nabo bamuwulire obuka