Liigi ya Rugby eya 2026 etandika ku Lwamukaaga luno ng’etongozeddwa ku Cooper Chimney Restaurant ku National Council of Sports e Lugogo.
Abazannyi basuubiziddwa nti bagenda kwongera okuganyulwa mu liigi eno oluvannyuma lw’abavujjirizi okuteekamu ensimbi eziwera.
Pulezident w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno, ekya Rugby Uganda, Godwin Kayangwe ategeezezza nti ensimbi nnyingi mu zino zigenda kuganyula amakiraabu olwo zituuke neku bazannyi, ate ng’endala zakuyamba okubunyisa omuzannyo mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu okutuukiriza etteeka ly’emizannyo eppya okubeera mu disitulikiti 50 ku buli 100 mu ggwanga.
Aba Nile Breweries balangiridde nti liigi y’omwaka guno bagitaddemu ensimbi sh1,342b (akawumbi kamu n’obukadde bisatu mu ana mu bubiri) nga za liigi yokka era ng’egenda kuzannyirwa emyezi etaano.

Aba Rugby
“Ekibiina tukiwadde ssente era kye kigenda okutemaatema ensasaanya. Kye tugenda okusinga okutunuulira kwe kulaba nti abawagizi beeyongera okwagala omuzannyo gwa rugby. Abawagizi ye muzannyi owe 16 era nabo bagenda kufunamu nnyo mu buvujjirizi buno,” kitunzi wa Nile Breweries, Wangechi Gitahi bw’ategeezezza mu kutungoza empaka zino.
Ye Sam Hooper owa Hariss International ategeezezza nti bongedde okuteeka ensimbi mu rugby olw’obukulembeze n’ensirunkanya ennungi gye balabye mu baguddukanya.
“Tutaddemu sh300,000,000/= (Obukadde bisatu) sizoni eno,” Hooper bw’ategeezezza.
Kiraabu z’abasajja 12 n’ezabakazi 7 ze zigenga okuvuganya mu liigi eno etandika ku Lwomukaaga ku bisaawe ebitali bimu.
Kakira Rugby Club ne Impis ze zeesozze liigi eno okuva mu kibinja ekya wansi oluvannyuma lwa Eagles ne Wolves okusalwako sizoni ewedde.
Pirates abaakiwangula omwaka ogwedde baggulawo ne Kobs ku kisaawe kya Kings Park e Bweyogerere, so nga Heathens eyatwala Uganda Cup eggulawo ne Kakira eyeesozze liigi omwaka guno ku kisaawe kya Kyadondo e Lugogo.
Mu bakazi, ba kyampiyoni ba liigi omwaka oguwedde baggulawo ne kiraabu ya Ewes era e Bweyogerere nga guno gwe gusookawo ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo.
Enzannya za Liigi ya Rugby Leero (Lwamukaaga)
Abasajja:
Pirates v Kobs – Bweyogerere
Impis v Warriors – Makerere
Heathens v Kakira – Kyadondo
Walukuba v Mongers – Abel Dhaira - Jinja
Rhino v Victoria Sharks – Lugogo Legends
Abakazi:
Nile Rapid v Thunderbirds-Jinja
Black Pearls v Ewes- Bweyogerere
She Wolves v Panthers – Mbale