Ebyemizannyo

Kiplimo, Watambala ne Kitatta beetisse engule ya Real Star

Omuwuwuttanyi wa Vipers SC, Karim Watambala yeetisse abasambi b’omupiira mu mwezi gwa January n’asitukira mu ngule ya Fortebet Real Stars Award eweebwa abazannyi abakize ku bannaabwe mu mizannyo egitali gimu buli mwezi.

Abaweerddwa engule
By: Silvano Kibuuka, Journalists @New Vision

Omuwuwuttanyi wa Vipers SC, Karim Watambala yeetisse abasambi b’omupiira mu mwezi gwa January n’asitukira mu ngule ya Fortebet Real Stars Award eweebwa abazannyi abakize ku bannaabwe mu mizannyo egitali gimu buli mwezi.

Alondeddwa ng’awangudde banne babiri bwe babadde bavuganya, Frank Sebufu owa SC. Villa wamu ne Ambrose Kigozi owa UPPC e Ntebe.

Watambala yateebye ggoolo ttaano mu January ate n’akola omukisa gumu okuyamba munne okuteeka era nga buno bwe bumu ku buwanguzi obutadde ttiimu ya Vipers ku ntikko y’ekimeeza kya liigi ya Uganda.

URA yagiteeba bbiri, so nga UPPC, SC Villa ne Buhimba yabateeba emu buli ttiimu.

“Ndi musanyufu okuwangula. Enkolagana ennungi ne basambi bannange ate n’okugendera ku magezi agampebwa abazannyi n’abatendesi bye bimu ku binyambye okuwangula,” Watambala bwe yategeezezza.

Abaweereddwa engule

Abaweereddwa engule

Mu misinde, Jakob Kiplimo y’asitukidde mu ngule ye January eno nga bamusiima okuwangula emisinde gya Kiromita 10 mu mpaka za World Cross Country ezaabadde mu ggwanga lya Amerika omwezi oguwedde.

Yawangula zaabu, emu kw’ezo ebbiri abazannyi ze badda nazo ng’abaddusi 22 be baawangulayo emidaali.

Ono yavuganyizza ne Charity Cherop eyawangudde omudaali gw’ekikomo wamu ne Joy Chepkeyok eyawangulayo omudaali gw’ekikomo)

Omuzannyi wa Ggoofu, Willy Kitata ye yeetisse omuzannyo guno bwe yawangudde empaka za Sunshine Tour ezaabumbujjidde e Thika m Kenya.

Ono yakikiriddwa, Innocent Ndawula eyamukwatidde ekirabo kye.

“Tumusiima kubanga alaze obuvumu bunene okuwangula empaka ez’amaanyi. Twagala akomengawo mu mpaka ez’amaanyi ng’asinga kwetaba mu za Magical Open e Thika,” Ndawula bwe yategeezezza.

Akulira Real Stars, Isaac Mukasa ategeezezza nti bano baalondeddwa luvannyuma lwa kubeekeneenya nga basaanidde okusiimibwa.

“Tunoonya abavunnirizi abalala okugaziya abawanguzi okuva mu mizannyo egiwerako,” bwe yategeezezza.

Abavujjirizi Diana Athieno owa Molecule, Reste Mbatidde owa Fortebet ne Judith Nabule owa Jude Color Solutions be baakwasizza abawanguzi ebirabo.