Ebyemizannyo

Ab'emizannyo gy'abaliko obulemu batandise okwetegekera empaka z'ensi yonna

Ekibiina ekiddukanya emizannyo gyabaliko obulemu mu ggwanga ekya National Paralympic Committee of Uganda (NPC) kitandise kaweefube wokkwetegekera empaka zensi yonna ezabaliko obulemu ezigenda okubeera mu ggwanga lya amerika mu 2028.

Joshua Aneibyona ng'akasuka akayinja mu mizannyo gy'abaliko obulemu
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Ekibiina ekiddukanya emizannyo gyabaliko obulemu mu ggwanga ekya National Paralympic Committee of Uganda (NPC) kitandise kaweefube wokwetegekera empaka zensi yonna ezabaliko obulemu ezigenda okubeera mu ggwanga lya amerika mu 2028.  

RDC we Masaka nga yeegeza mu kukuba akasaale

RDC we Masaka nga yeegeza mu kukuba akasaale

NPC etandise nakusunsula bazannyi abawerako omuli abaddusi n'abakanyuga olunyago. Ku lwokutaano lwa wiiki eno bannabyamizannyo bagenda kubiteekamu engatto boolekere eggwanga lya UAE gyebagenda okwetaba mu mpaka zabaliko obulemu eza World Para Athletics Grand Prix mu kibuga Abu Dhabi. Ekibinja kyabantu 11 okuli abazanyi Mwenda nabakungu babiri bebagenda okukiikirira eggwanga mu mizannyo egyo. 
Ekibinja kya Uganda kyakuduumirwa musaayimuto Anna Harriet Anzoa (T46) owemyaka 17 nga ono mukanyuzi wa lunyago kiyite Javelin. Abalala kuliko Aciro Prisca (100m, 200m, 400m – T47), Opio Daniel (1500m, 5000m – T12), Ilalo Monica (1500m, 400m, javelin – T12) ne Onega Daniel Rwothomiyo (100m, 400m – T47).

Abaliko obulemu nga bavuganya mu mizannyo egy'enjawulo e Masaka

Abaliko obulemu nga bavuganya mu mizannyo egy'enjawulo e Masaka

Abalala abagenda kuliko Jimmy Innocent (100m, 400m – T11), Rubangakene Brian (100m, 400m – T47), Ocira Richard (1500m, 5000m – T54) ne Jagalo Joshua agenda okuyambako Jimmy Innocent nga adduka. Irene Nabisenke omukungu mu kibiina kya NPC yagenda okukulembera ekibinja kya Uganda.

Abaddusi abasinga obungi guno gwemulundi gwabwe ogusoose okugenda emitala Mayanja nga okusinga batwaliddwa okwekebejjebwa abasawo nokubalambika ku mizannyo egyenjawulo gyebalina okwetabamu kiyite classification. 

Akulira ebyemirimu mu NPC Patrick Synole yalambuludde ku bukulu bwokuwa abavubuka bano omukisa nga bayita mu kwekeneenyezebwa. “ abasinga tebafunga kwekeneenyezebwa kakiiko kansi yonna, nolwekyo twagala basooke beekeneenyezebwe noluvannyuma beetabe mu mpaka eziriyo.” Synole bweyagambye. 

Pulezidenti w'emizannyo gy'abaliko obulemu Mpindi Bumaali ng'ayozaayoza abawanguzi

Pulezidenti w'emizannyo gy'abaliko obulemu Mpindi Bumaali ng'ayozaayoza abawanguzi


Synole yayongeddeko nti en yeemu ku kaweefube NPC gweyatandise okuzimba tiimu yabavubuka abagenda okukiikirira eggwanga mu mizannyo gyensi yonna omuli commonwealthnemizannyo gyabaliko obulemu egyensi yonna egya Los Angeles 2028 Paralympic Games. 
Okwekeenenya abazanyi kwakubeerawo wakati wa 6-9 omwezi guno ate emizannyo gitandike nga 10 okutuusa 13 omwezi guno.