Ebyemizannyo

KCB Bank ewagidde munnayuganda Oscar Ntambi okuvuganya mu mpaka z'ensi yonna ez'emmotoka e Kenya omwezi ogujja

BANK ya KCB eronze munnayuganda Oscar Ntambi  okwetaba mu mpaka z'emmotoka ez'ensi yonna ezimanyiddwa nga World Rally Championship ez'okubaawo omwezi ogujja mu ggwanga lya Kenya.

KCB Bank ewagidde munnayuganda Oscar Ntambi okuvuganya mu mpaka z'ensi yonna ez'emmotoka e Kenya omwezi ogujja
By: Procopios Lumu, Journalists @New Vision

BANK ya KCB eronze munnayuganda Oscar Ntambi  okwetaba mu mpaka z'emmotoka ez'ensi yonna ezimanyiddwa nga World Rally Championship ez'okubaawo omwezi ogujja mu ggwanga lya Kenya. 

Oscar Ntambi  avugira mu  Forest Rally team  nga ono yali amanyiddwa nnyo mu mmotoka  y’ekika kya Toyota Altezza nga kati    yaguze mmotoka empya ekika kya Mitsubishi Evo 10.
Ntambi  yeegasse ku bavuzi abalala okuli Karan Petel, Nikhil Sachania nga bano  bava mu ggwanga lya Kenya, ssaako ne Queen Kalimpinya okuva mu ggwanga lya Rwanda.
Ntambi bweyabuuziddwa butya bwe yetegese, ono yatutegeezezza  nti yetegese bulungi wamu n'emmotoka okusobola okulaba  ng’aleetera Uganda  obuwanguzi.
Mmotoka Ntambi gye yafunye mpya era nga ono yatutegeezezza nti mu kiseera kino bakola butaweera okuteereza mmotoka kyuma ku kyuma.
Ntambi yasuubizza bannayuganda naddala abawagizi be nti tagenda kubaswaaza era asuubirwa okuvaayo n'obuwanguzi  .
Okuddamu ekibuuzo ky’abawagizi  oba Ntambi agenda kuvuga empaka zonna, ono agambye nti omwaka guno agenda kwetaba mu mpaka zonna okuli ez’eggwanga NRC ne  ARC2.
Ntambi akunze bannayuganda bonna okugenda mu bungi mu ggwanga lya Kenya okuwagira ng’abbinkana n’abavuzi okuva mu nsi yonna.
Ntambi yatandika okuvuga  mmotoka z’empaka mu mwaka gwa 2019  mu Toyota Altezza era champion wa w’omwaka ogwa. 
Mu 2020 ono yasuumusibwa ku mutendera ogw’abakirimaanyi mu Subaru N10 wabula nga eno teyagifunamu mukisa era nga mweyavudde okugula Mitsubishi evo 10