Abawanguzi mu mpaka za Uganda National chess championships
Mu Basajja
1. Wasswa Nyola Mark 8.5
2. FM Kawuma Patrick 7.5
3. FM Bob Bibasa 7
4. CM Egesa Emanuel 6.5
5. FM Haruna Nsubuga 6.5
Mu Bakyala
1. WIM Sana Omprakash 9
2. Asiimwe Olivia 8
3. WCM Asaba Juliet 7.5
4. WCM Ampaire Shakira 7.5
5. WCM Kawuma Patricia 7.5
NNANTAMEGGWA w'omuzannyo gwa chess mu Africa Sana Kayyar Omprakash ayongedde okweriisa enkuuli mu muzannyo guno oluvannyuma lw'okuwangula empaka za 2026 National Chess Championship olunaku olweggulo.
Guno gubadde mulundi gwa kubiri omwaka guno nga Sana awangule empaka ez'omuzinzi mu bbanga lya myezi gumu.

Nnantameggwa wa chess mu bakyala Sana Omprakash nga alowooza kyazaako mu muzannyo gwe ne Ampaire
Sana yawangudde engule y'omwaka guno oluvannyuma lw'okukuba nnantameggwa w'omwaka oguwedde Ampaire Shakira mu lawundi ey'omunaana eyabadde ey'okufa nokuwona.
Sana yabadde yeesasuliza ku Ampaire eyamutwalako engule mu 2024 oluvannyuma lwokusibagana ku bubonero 10.5 wabula Ampaire namusingako okusinziira ku nsengeka kiyite tie break.
Sana yatandise bulungi empaka bweyakungaanyizza obubonero 4 mu mizannyo etaano. Wabula mu lawundi ey'omukaaga Zuri Tatiina yamukubye ekyamutadde mu bibalo byakimeeza.

President wa UCF Andrew Bakiza (wakati) nabawanguzi Wasswa Nyola ne Sana Omprakash
Okuva ku kikangabwa ekyo Sana yazze engulu n'awangula emizannyo gye etaano egyomuddiringanwa n'asitukira mu buwanguzi bwempaka zomwaka guno.
Mu mutendera ogwa'abasajja Wasswa Nyola omuyizi ku ssetendekero lya Kampala university yazeetisse oluvannyuma lw'okukungaanya obubonero 9 mu nzannya 11.
Nyola yakubye abamu ku bakirimaanyi mu muzannyo gwa chess mu Uganda okwabadde ba FIDE Masters Harold Wanyama ne Bob Bibasa. Ono era yagudde amaliri ne Patrick Kawuma, Egesa Emanuel nomutendesi wa tiimu yeggwanga Mathias Ssonko bwatyo nasitukira mu ngule ye eyasookedde ddala mu byafaayo.
Abazanyi abataano abaakulembedde mu buli mutendera baalondeddwa okukiikirira Uganda mu mpaka za Chess Olympiad ezomulundi ogwa 46 ezigenda okubeerawo mu mwezi ogwomwenda omwaka guno mu ggwanga lya Uzbekistan.

Ch 67
Nyola waakwegatibwako abasajja abalala okuli Patrick Kawuma eyakutte ekyokubiri, Bob bibasa, Emanuel Egesa ne Haruna Nsubuga. Mu bakyala Sana waakwegatibwako Asiimwe olivia, asaba Juliet, Ampaire Shakira, ne Patricia Kawuma.
President wekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga Andrew Bakiza mugumu nti bamusaayimuto abagenda okukiikirira uganda ku mulundi guno baakuteekawo okuvuganya okumala oluvannyuma lwokuvuganya nabakulu ate nebabakuba