Ebyemizannyo

Aba St. Noah Girls beesozze oluzannya lwa quarter final mu mpaka z'omupiira gw'amasomero

Bannantameggwa b'omwaka oguwedde ab'omupiira ogw'abawala aba St. Noah Girls beesozze oluzannya lwa quarter final oluvannyuma lw'okukuba Moyo stars 5-0. St. Noah yateebye goolo 3 mu dakiika 10 ekisooka era ekitundu ekisooka ne kiggwako nga bakikulwmbede 3-0.

Abaana nga battunka mu kapiira
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

 Round of 16 Mupiira (Bawala)

St. Noa girls 5  Moyo stars 0
Ug. Martyrs (3) 2  Latifah mixed (4) 2
Nkoma SS     0   Rines 2
Kawempe      4   St. Charles 1
Boni Consili   1    Jinja Comp 0
Bukedea Comp (4) 1 Stahiza 1 (3)
Kashenshero    1  JIPRA 4
Amus College  6  sacred Heart 0
Ensero eya  5x5 (Balenzi)

Seeta A 39  Merryland 34 

Buddo SS 46  St. Michael 25

Faith High  27  Mengo SS  30

St. Joseph  17  St. Cyprian  56

Volleyball Bawala (Quarter final)

Tororo girls 3  Sheema Girls 1

Namagunga 0  immaculate H 3

Bukedea      3  Trinity College 0

Iganga SS     0  Kinawa High   3

Bannantameggwa b'omwaka oguwedde ab'omupiira ogw'abawala aba St. Noah Girls beesozze oluzannya lwa quarter final oluvannyuma lw'okukuba Moyo stars 5-0. St. Noah yateebye goolo 3 mu dakiika 10 ekisooka era ekitundu ekisooka ne kiggwako nga bakikulwmbede 3-0.

Okuttunka mu basketball

Okuttunka mu basketball

Mu kitundu eky'okubiri baatandikidde webaakomye okukakkana nga babongede goolo endala bbiri. Abalala abaayiseewo kuliko Latifa mixed eye Mukono, Rines, Kawempe Muslim, Boni Consili, Bukedea, Jinja Progressive ne AMUs college eyakubye Sacred Heart 6-0.

Mu volleyball ow'abawala ku mutendera gwa quarter final Tororo girls yakubye Sheema 3-1, Immaculate Heart nekuba Namagunga 3-0, Bukedea nekuba Trinity college Nabbingo 3-0 ate nga yo Kinaawa high nayo yayiseewo oluvannyuma lwokukuba Iganga SS 3-0.

Mu balenzi Standard High Zzana, Bukedea Comprehensive, standard high Zana nabategesi aba seroma nabo baayiseewo okwesogga oluzannya oluddirira olwakamalirizo.

Okuttunka mu mpaka z'okubaka

Okuttunka mu mpaka z'okubaka

Mu nsero eyabalezi Seeta High School A yawangudde emizannyo gyayo gyonna egyebibinja neyesogga round eye 16 nga tekubiddwa. Mu gyebaasembyeyo okuzanya baakubya Merryland High School 39-34 ne Bishop Cyprian Kihangire 58-22.

Yo St. Cyprian Kyabakadde yatimpudde St. Joseph’s Layibi 56-17 ate Mengo SS nekuba Faith high 30-27. Enzannya za quarter final ne semi zaalinaku lwa nkya. Eza National ball games 1 zituuse ku quarter Final, St. Noa ekubye taano. Amus, Bukedea ne Kawempe ziyiseewo