Semi final
Amus (4)0-0(1) Kitende
Bukedea 1-0 Kyaddondo SS
Final enkya
Amus ne Bukedea, ssaawa 8.
Amus college ne Bukedea comprehensive okuva e Teso zikomezza ejjoogo lyamassomero ga wakiso mu mpaka zomupiira eza USSSA. Kino kyaddiridde Amus college ne Bukedea okutuuka ku luzannya olwakamalirizo Olunaku olweggulo nga guno gwemulundi ogusoose okuzannya empaka zomupiira gwamassomero ezaakamalirizo nga tekuli tiimu ya wakiso mu myaka 10.
Amus college okutuuka wano yasoose kuggyamu aba St. Mary’s Kitende abakyasinze okuwangula empaka zino emirundi emingi nga baabaggyiddemu mu kakodyo kokusimulagana peneti. Omupiira gwabadde gwa vvaawo mpitewo okuva wegwatandise nga buli ludda lulumba buteddiza wabula gwawedde nga tewali alengedde katimba ka munne.

Okuttunka mu muoiira
Nga gunaatera okuggwa omuwuwutanyi wa Amus yaweereddwa kaadi emyuufu olwokuzanyisa ettima ku muteebi wa Kitende Dennis Kisiriko eyabadde akola ennumba ezokumukumu. Wabula mu kusimulagana peneti Amus College yaguwangudde 4-1 nga abakubi ba peneti aba Kitende okuli kapiteeni Collins Ochata ne Marvin Kabiito baazikubye mu ngo zomukwasi wa goolo ya Amus.
Rashid Jamil, Mathias kasadha, Roy Olara ne Ivan Okello bebaateebedde Amus college. Eya Kitende yokka yateebeddwa Moses Kalule. Guno gwabadde mulundi gwakusatu ogwomuddiringanwa nga Amus college ewandula Kitende mu mpaka ezomuzinzi. Mu 2024 Amus yaggyamu Kitende mu mpaka zezimu ezaali e masaka neddamu nebakuba mu mpaka za FEASSA Uganda zeyategeka e Bukedea. Kitende yasemba okukuba Amus mu 2023 mu mpaka za FEASSA ezaali e Rwanda.

Omupiira
Kitende ezze ewandulwa mu mpaka ezenjawulo buli webadde etuuka mu bunnya nga ku kitundu etaano gyesembyeyo okutuuka mu peneti ewanguddeko gumu gwokka.
Mu mupiira omulala Bukedea comprehensive ewanduddemu Kyaddondo SS gyeyakubye goolo 1-0 eyomuzanyi Patrick Ssenkusu gyeyateebye mu kitundu ekyokubiri.
Oluzannya olwakamalirizo lwakubeerawo leero ku ssaawa munana wakati wa Amus college ne Bukedea nga bano bombi tebawangulangako ku mpaka zino. Omuwanguzi wo waka guno agenda kuweebwa kikopo ekipya ekyatongozeddwa aba USSSA. Tiimu zonna ezaatuse ku luzannya oluddirira olwakamalirizo zaayiseewo okukiikirira Uganda mu mpaka za FEASSA ezigenda okubeera mu kibuga Morogoro ekya Tanzania mu mwezi ogwomunana omwaka guno.