Ebyemizannyo

BIZZEEMU;Abazannyi basiniya baabulira SC Villa

SC VILLA, bakyampiyoni ba liigi aba sizoni ya 2023/24, boolekedde okufuuka ‘nnassale’ ya ttiimu ennene omwaka ogwokuna oguddiring’ana. Oluvannyuma   ekyokusatu sizoni eno, abazannyi baayo basiniya 2 bali ku ndeboolebo ya kugyabulira sso nga waliwo n’abalala abapererezebwa. Omuteebi Charles Lwanga ‘Neymar’ ne ElvisNgonde endagaano zaabwe zaaweddeko nga kigambibwa nti bateekateeka kutambulamu.

Mandela
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

SC VILLA, bakyampiyoni ba liigi aba sizoni ya 2023/24, boolekedde okufuuka ‘nnassale’ ya ttiimu ennene omwaka ogwokuna oguddiring’ana. Oluvannyuma   ekyokusatu sizoni eno, abazannyi baayo basiniya 2 bali ku ndeboolebo ya kugyabulira sso nga waliwo n’abalala abapererezebwa. Omuteebi Charles Lwanga ‘Neymar’ ne Elvis
Ngonde endagaano zaabwe zaaweddeko nga kigambibwa nti bateekateeka kutambulamu.
Ensonda ziraga nti ne Hassan Mubiru, omu ku babadde  empagiruwaga mu ttiimu eno sizoni ewedde, wadde akyalina endagaano, aba KCCA ne Vipers bamuperereza. BASINIYA ABAABULIDDE VILLA
Sizoni ewedde, ggoolokipa Meddie Kibirige yeegatta ku Kitara ate mu anuary, Tonny Atukunda yayabulira Villa n’agenda mu NEC FC era gwe baalonze nga eyasinze okukuba amakkati mu ttiimu eyo. Mu sizoni ya 2024/25, eyali kapiteeni wa Villa, Ronald Ssekiganda n’omuteebi, Hakim Kiwanuka beegatta ku APR eya Rwanda. Bombi baali bamaze okufuna ennamba ku Cranes. Nga Villa emaze okuwangula liigi ya 2023/24, eyali kapiteeni waayo, Kenneth Ssemakula, omumyuka we, Garvin Kizito ne Umar Lutalo baagyabulira nga balemeddwa okukkaanya ku kuzza endagaano obuggya. Ssemakula yagenda mu Club Africain eya Tunisia, Gavin mu KCCA aten Lutalo mu Kitara nga Ivan Sserubiri ye yamusookayo. Ye Abbas Kyeyune yatundibwa mum Cleopatra Ceramica eya Misiri. Mu ya 2023/24, Villa lwe yalemererwa awatonon okuwangula liigi, yaviibwako eyali kapiteeni Gift Fred ne Charles Bbaale eyasinga okugiteebera. Gift Fred yeegatta ku Young Africans ya Tanzania ate Bbaale mu Rayon Sports eya Rwanda. Mu sizoni y’emu, Travis Mutyaba yagenda mu Zamalek eya Misiri. Okuva Hajji Omar Mandela lwe yadda mu Villa, afunvubidde okugizimba n’okugiwa buli kimu eddemu okuwangula ebikopo nga bwe gwali mu myaka gy’e 90 ne 2000. Alambika nti tagenda kugula bazannyi ba bbeeyi wabula okuzimba abato abakulize mu nnono ya kiraabu.