EKIBIINA ekiddukanya emizannyo gy'amasomero ga siniya ekya USSSA kitongozza emitendera egigenda okuyitibwamu mu kulonda kwabakulembeze mu kisanja ekya 2026-2030.
Abakulembeze ku mitendera okuli ogwa district, zonal ne national abasoba mu 2000 beebagenda okulondebwa oluvannyuma lwekisanja kyabaliko okuggwako.

Okwanjula enteekateeka z'okulonda
Okusinziira ku nteekateeka eyatongozeddwa akalulu kajja kuba ka kyama nga abawanguzi bajja kusinziira ku bungi bwobululu omuwanguzi bwanaaba afunye.
Okusunzula abagenda okwesimbawo kwakubaawo okuva nga ennaku zomwezi 3 okutuusa nnga 16 omwezi ogujja olwo okulonda ku mutendera gwa district kubeewo nga enaku zomwezi 20. Abasomesa abatendeke bokka abaawandiikibwa ministry yebyenjigiriza nebyemizannyo bebakkirizibwa okwesimbawo nga buli eyesimbyewo avuganya ku kifo kimu kyokka.
Okulonda okwa zone kwakubaawo nga ennaku zomwezi 25 nga okusinze okwesungibwa kwekulonda kwa president wa USSSA okugenda okubeerawo nga 1 omwezi ogwomunana ku kitebe kya USSSA ekikulu mu kampala. Ebifo 190 byebiriko okuvuganya ku mutendera ogwa zone ate ebifo 20 ku bifo ebyabakiise beggwanga lyonna ekya national.

Okwanjula enteekateeka
Bwabadde atongozza enteekateeka zino eyaliko president wa USSSA Patrick Okanya akubidde abaagala okwesimbawo omulanga okugoberera amateeka agateereddwawo nekigendererwa ekyokutegeka okulonda okwamazima nobwenkanya.
Akulira akakiiko kebyokulonda mu USSSA Joseph Okodeu Opio akakasizza abagenda okwesimbawo nga bwebagenda okutegeka akalulu akeerufu nabasaba okumusaamu obwesige.
President aliko Justus Mugisha asuubirwa okuddamu okwesimbawo yadde nga tewali muntu yeesowoddeyo kumwesimbawko wetwakoledde eggulire lino.