Ebyemizannyo

Abenyigira mu Rugby w'abaliko obulemu batandise okutendekebwa

Abenyigira mu Rugby w'abaliko obulemu batandise okutendekebwa

Aba Rugby wabalikoobulemu nga batebdekebwa
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

ABAZANNYI b'omugwannyo gwa Rugby owabaliko obulemu ogwa wheelchair rugby batandise okutendekebwa nga beetegekera liigi yomuzannyo gwa wheelchair rugby egenda okusookera ddala mu ggwanga mu mwezi ogwomunana omwaka guno. 
Abazanyi baakutendekebwanga buli lwakuna  ku kisaawe e Makerere nga abazanyi okuva mu tiimu z’e kampala, Wakiso ne Gulu beebetabye mu kutendekebwa okwasoose.  Aba Rugby nga batendekebwa

Aba Rugby nga batendekebwa


Liigi eno esuubirwa okwetabwamu ne tiimu engenyi okuva mu gwganga lya wales ezanyira mu kibinja kya babinywera mu ggwanga eryo. Tiimu eno egenda kujja kuno wakati mu nteekateeka yokuyambako okukulakulanya omuzannyo guno mu Uganda. 
Nga oggyeeko okuvuganya mu mpaka zino, abagenyi baakuwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu Uganda ekya wheelchair rugby federation ebikozesebwa saako nokuwa abazanyi nabatendesi baakuno obukodyo ku ngeri omuzanyo gyeguzanyibwamu. Abalala era baakutendekebwa ku ngeri gyebakanikamu obugaali bwabaliko obulemu obukozesebwa mu muzannyo. 
Mu kutendekebwa okwasoseewo abazanyi baabayitidde mu bukodyo obwenjawulo omuli enkwata yomupiira, okugugaba, okuvuga obugaali nokwegaba.

Aba Rugby w'abaliko obulemu nga bali mukutendekebwa

Aba Rugby w'abaliko obulemu nga bali mukutendekebwa


Abakulembeze bomuzannyo guno mu Uganda nga bakulembeddwa president Jairus Mukota bategezezza nti mu liigi eno mwebagenda okujja abazanyi abagenda okukiikirira Uganda mu mizannyo egiri ku mutendera gwa Africa egigenda okubeera mu ggwanga lya south Africa omwaka ogujja.  
Wabula ono mwennyamivu olwebbula lyebikozesebwa sako nebisaawe webatendekebwa ebituukagana nomutindo ogwetaagisa. 
Empaka zino ezisookedde ddala zaakubeerawo wakati wennaku zomwezi 3-7 omwezi ogwomunana omwaka guno ku kisaawe ekibikke ekye Lugogo.
[18:33, 6/15/2026] KAFULUMA: aba Rugby owabaliko obulemu batandise okutendekebwa, beetegekera mpaka za africa ezomwaka ogujja.