Ebyemizannyo

UPDF empadde omulimu naye ekijja si muntu - Mbalangu

TEWALI mbeera Katonda gye yatonda nga yaakubeerawo lubeerera....."Obubaka mu luyimba lw'Omulangira Ssuuna butuukira ku mutendesi Hussein Mbalangu.

Mbalangu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

TEWALI mbeera Katonda gye yatonda nga yaakubeerawo lubeerera....."Obubaka mu luyimba lw'Omulangira Ssuuna butuukira ku mutendesi Hussein Mbalangu.

Oluvannyuma lwa URA FC okumugoba n'emusikiza Jimmy Kintu ng'egamba akonya abazannyi, UPDF FC nayo evuganyiza muliigi ya bakirimaanyi, erangiridde Mbalangu ku butendesi.

Asikidde Alex Gitta eyagisuddewo oluvannyuma lw'okuwonera awatono okusalwako mu liigi eno sizoni ewedde. Yamalidde mu kifo kya 14 ku ttiimu 16.

Mbalangu awanduliddewo omuliro nti, "Gano magye. ηηenda kuzimba eggye ery'entiisa era mbakakasa ekijja sizoni ejja si muntu.

Bangi bannyooma naye ηηenda kuzoganya ttiimu zonna. Abalowooza nti notisi nazireka ku NEC FC bubakeeredde.” "Akaseera mwe bampeeredde ttiimu kalungi nnyo kuba kammala okusunsulamu abanafu nsigazeabakuba bizinensi," bwe yagambye.

Tags: