Ebyemizannyo

KCCA FC eky'entambula y'abazannyi ekimaze

ABAZANNYI ba KCCA FC emitima gyakubabeera wamu nga bagenda ku mipiira sizoni ejja oluvannyuma lwa bakama baabwe okutuusa bbaasi empya.

Eyaliko kapiteeni n'okutendeka KCCA ate nga kati mmemba ku lukiiko lwayo olufuzi, Jackson Mayanja (ku kkono) ne be baamu ku beekebezze bbaasi empya. Baabadde Jinja ku Lwokubiri.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAZANNYI ba KCCA FC emitima gyakubabeera wamu nga bagenda ku mipiira sizoni ejja oluvannyuma lwa bakama baabwe okutuusa bbaasi empya.

Bbaasi, ekika kya 'Kayoola', eyazimbiddwa kkampuni ya Kiira Motors e Jinja esuubirwa okwanjulirwa nnankulu wa KCCA, Hajati Sharifah Buzeki obudde bwonna. Etuuza abantu 50.

Ssentebe wa KCCA, Andrew Mukiibi Sserunjogi yategeezezza nti bakyalina ebitonotono bye batereeza nga we babimalira aba Kiira Motors baakugikwasa Hajati Buzeki oluvannyuma bajanjulire abawagizi.

Benon Kigenyi, amyuka Buzeki yagambye nti bbaasi erimu buli kimu era abazannyi bagenda kutambula nga bakungu.

Tags: