KYAMPIYONI wa mmotoka z’empaka, Ronald Ssebuguzi akkirizza nti omwaka guno tebinna mutambulira bulungi nti kyokka tagenda kukkiriza bavuzi banne kumuliisa nfuufu mu z'e Garuga ku wiikendi.
Yagambye nti engule ya NRC tannalaga bulungi mutindo gugyeddiza n'awera nti, "Ku ya sprint ηηenda kugifi irako." Eno ye y'akafubutuko.
“Nnina okulaga bannange nti siggwangamu. N’omwaka guno nnina okunnyukayo n’engule. Ku bumanyirivu bwe nnina, sisuubira nti waliwo ampunyamu era e Garuga banneerinde,” Ssebuguzibwe yaweze.
FMU Championship Sprint, ze mpaka ezigenda okuggulawo kalenda y’ez'akafubutuko ey’omwaka guno. Abavuzi ba ddigi 40 nabo baakakasizza okuzeetabamu.