ABAAGUZANNYAKO abeegattira mu kibiina kya Former Footballers Seniors Foundation bategese ebivulu ne Afrigo Band mu mu kaweefube gwebaliko ow'okussaawo amakubo ag'okusitula embeera y'abaazirwanako.
Paasita Paul Musisi omuyima w'ekibiina kino agambye nti batonzeewo enkolagana ne Band ya Afrigo nga baakutegeka ebivulu okwetoloola eggwanga lyonna nga Ssente ezivaamu zaakuyamba ku baasamba omupiira basobole okwewalira ddala omuze gw’okusabiriza.

Abaagusambako nga bakyaddeko ku kitebe kya Vision Vision Group
Ssente ezinaava mu bivvulu bino Musisi agamba zaakuyambako abaali abasambi b'omupiira mu ngeri ey’enjawulo era balina ettaka lyebagenda okugula e Nakulabye batekeko pulojekiti.
Ssentebe we kibiina kino Paul Ssali “Gogolimbo” yagambye nti buli wobeera ng’osaba abantu batuuka ne bakukoowa era enkola eno egenda kubayamba nnyo okweggya mu bwavu.