Ebyemizannyo

Vipers ekomezzaawo Farouk Miya

OLUVANNYMA lw’okumala emyaka 10, Farouk Miya akomyewo mu Vipers okugiyamba okuwangula ebikopo eby’enjawulo.

Faouk Miya ng'ali mu kutendekebwa
By: Ismail Mulangwa, Journalist @New Vision

OLUVANNYMA lw’okumala emyaka 10, Farouk Miya akomyewo mu Vipers okugiyamba okuwangula ebikopo eby’enjawulo.
Ono abadde mu IIioupoli eya Greece era yaweereddwa layisinsi mu kaweefube wa ttiimu eno ow’okulaba ng’ekola bulungi mu mpaka za CAF Champions League.

Miya alina obumanyirivu ate n’omupiira gukyalimu era ali ku ttiimu egenda okuzannya empaka za CECAFA Kagame Cup ezigenda okutandika ku lwokutaano nga July 24 e Kigali, Rwanda.
Ono yegasse ku bazannyi okuli, Joel Sserunjogi eyabadde mu KCCA FC, Nicholas Mwere okuva mu BUL FC, Ceasar Manzoki ne Mangoba.
Omwaka oguwedde Vipers yawandukira ku mupiira ogusooka mu CAF Champions League.

Tags: