ABATEGESI b’empaka za mmotoka eza laawundi eyookuna ku kalenda y’engule y’eggwanga ey'omwaka guno bazitutte mu bitundu by'e Teso abavuzi gye baweze okweyabiza ebifuba. Empaka zino zigenda kuyindira Soroti ne Katakwi ku Lwokutaano n’Olwomukaaga.
Okusinziira ku Kees Kagolo, pulezidenti wa Eastern Motor Club ababadde batera okutegekera ez'e Jinja, okutwala empaka zino e Soroti baayagadde kuyambako FMU, ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga okugutambuza mu bitundu eby’enjawulo ng'eteeka ly’ebyemizannyo eppya bwe lirambika.