Ntugasaze FC eyakayingira mu liigi ya babinywera sizoni eno, egudde mu bintu, kkampuni ya Betika ebawadde kavbu wa bukadde 100.
Ddiiru eno yalangiriddwa ku kisaawe kya Kira Road Police Grounds, ku Lwokusatu egenda kuyamba nnyo enjuyi zombi okutuukiriza ebiruubirirwa byayo.

Ntugasaze FC nga balaga Obukadde 100 obubaweereddwa
Ntugasaze yatandikibwawo mu 2018, erwana omwaka gwayo ogusooka emalire mu bifo bye 10.
Kitunzi wa Betika mu Uganda, Desire Akanduhura yategeezezza nti omukago guno gwaleeteddwa olw’enkulaakulana ey’amaanyi eri mu Ntugasaze n’obukulembeze bwayo obulungi.
Obuwagizi bwa Betika bugenda kukyusa obulamu bwa Ntugasaze kuba butuukidde mu kaseera akatuufu. Ebimu ku biri mu ndagaano eno, buli mupiira bagenda kulondamu omuzannyi asinze banne (Player of the Match) aweebwe 150,000/-.

Abamu ku bazannyi mu Ntungasaze FC