Empaka z’amaato ga Kabaka ez’akamalirizo zengedde, zakubaawo enkya ku lw’omukaaga ku mwalo e Bunjakko mu ssaza lya Beene ery’e Mawokota.

Abagenda okwetaba mu Mpaka z'amato nga begezaamu

Yinginiya Ben Misagga ku ddyo ng'alambuza Miniista webyemizannyo e Mengo Sserwanga awagenda okubeera empaka z'amaato

Abe by'okwerinda nga bekenneeya ekifo kye Bunjakko Beach awategekeddwa emikolo
Ekitongole kya Ssabasajja ekye by’okwerinda wamu ne DPC w’e Buwama nabo babaddewo okulaba ng'enteekateeka zonna zitambula bulungi eri abaneetaba ku mukolo awatali kutataganyizibwa.

Yinginiya Ben Misagga ku ddyo ng'alaga minisita we by'emizannyo e Mengo Ssalongo Sserwanga amaato agageda okukozesebwa mu mpaka
Yiningiya Ben Misagga, ssentebe w’olukiiko olutegesi olw’empaka z’amaato olwa, Buganda Royal Regatta, agumizza abantu nti, eby’okusanyusa weebiri mu bujjuvu nga bikulembeddwaamu aba Afrigo band n’abayimbi abalala, nga bakutandika ku ssaawa emu ey’okumakya okutuusa akawungeezi ng’empaka ziwedde.