Ebyemizannyo

OMUKAMA OYO; Obukama bwagala bamubbulemu ekisaawe kye baabasuubizza

OBUKAMA bwa Tooro busabye Gavumenti ekisaawe kye yasuubiza okubazimbira, ekibbule mu abadde Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.

Omukama Oyo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OBUKAMA bwa Tooro busabye Gavumenti ekisaawe kye yasuubiza okubazimbira, ekibbule mu abadde Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.
Bino byategezeddwa Omuhikirwa (Katikiro) wa Tooro, Calvin Armstrong Rwomiire bwe yabadde ayogerako eri abantu b’e Tooro ng’enjole y’Omukama yaakakomezebwawo mu Uganda.

Omukama Oyo yafi iridde mu Amerika nga August 27 oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa akabanga ekirwadde kya kkansa. “Ku lw’Obukama bwa Tooro n’abantu ba Tooro bonna, tusaba Pulezidenti Museveni otuyambe okole ku kisuubizo ky’okutuzimbira ekisaawe ky'omupiira kye twagala kibbulwemu abadde Omukama waffe.
Tulabye nga kino ky’ekiseera ekituufu okumujjukiza ku nsonga eno kuba Omukama abadde munnabyamizannyo ataliiko kabuuza era y’engeri gye tusobola okukuumamu
omukululo gwe mu mizannyo.” Rwomiire bwe yategeezezza. Mu 2018, Gavumenti  yalambika ebitundu by'eggwanga by’egendaokuzimbamu ebisaawe omwali n’e Tooro. Wano Omukama Oyo we yaweerayo yiika 50 ku ttaka lye ng’ekitundu ekimu Gavumenti mw’erina okuzimba ekisaawe.
OMUKAMA OYO MU MIZANNYO
Abadde muwagizi wa Arsenal atava mu mujoozi gwayo naddala mu biseera bye ebyeddembe. Tekyewuunyisa omubiri gwe bwe gwabadde gutuuka ku kisaawe kya Humura Grounds mu disitulikiti y’e Kyegegwa, abawagizi ba Arsenal abaabadde mu mijoozi be bamu ku bagwanirizza.
Yatandikawo empaka z'Amasaza ga Tooro ez’omupiira n’okubaka ezibadde zizannyibwabuli mwaka. Empaka zino zibadde zeetabwamuamasaza 9 agakola Obukama bwa Tooro okuli; Kyaka, Fort Portal City, Burahya, Bunyangabu, Ntoroko, Mwenge South, Mwenge North, Kibale ne Kitagwenda.
Abadde anyumirwa nnyo emmotoka z’empaka nga mu 2024 ye yaggulawo empaka za EMC Fort Portal City Tourism Rally era ye yavuga mmotoka eyaggulawo ekkubo mu
kasaawe e Kyakaigo.
Okusinziira ku Minisita wa Tooro ow’ebyenjigiriza n’emizannyo, Devine Francis Kateeba, Omukama Oyo yali musaale mu kubakuutira okuzzaawo emizannyo okuli ebikonde era kiraabu z’ebikonde okuli Fort Portal City Boxing Club, Rwengoma Ghetto Boxing Club ne Bunyangabu zeewandiisa wansi wa UBF, ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga. Abadde ne mu mizannyo emirala nga; obugaali, rugby, golf n’emirala.

Tags: