Leero mu Champions League;
LASK - Liverpool, 1:45
Feyenoord - Commo
Man City - PSG, 4:00 ekiro
Roma - Real Madrid
Aston Villa - Fenerbahce
Real Betis - FC Porto
Bodo/Glimt - Dortmund
Shakhtar - AEK Athens
Slovan Bratislava - Stuttgart
BRADLEY Barcola ne Florian Wirtz, abaagulwa obuwanana okwegatta ku Liverpool, leero balina omukisa ogwebbulula eri abo ababayeeya nti, "Ezaabagula zaafa ttogge."
Buli omu Liverpool yamugula pawundi obukadde 116 kyokka tekunnabaako azannya mupiira gumusuubirwamu.
Barcola, eyaguliddwa mu PSG, tannateebayo ggoolo sso nga Wirtz yaakateeba ggoolo 5 zokka eza Premier okuva bwe yagulwa mu Bayer Leverkusen omwaka oguwedde.
Bombi baavumiriddwa nnyo, Man City bwe yalumbye Liverpool ku Anfi eld n'egiwuttula (3-0) mu Premier ku Ssande. Kapiteeni wa Liverpool, Van Dijk yeegasse ku bacoomera Barcola ne Wirtz n'abajjukiza nti ttiimu gye bazannyira nnene nnyo terina kuswazibwa.
Yagambye nti okuzza emitima gy'abawagizi, bateekeddwa okukuba LASK eya Austria mu Champions League. Ensiike eno ya leero nga ne LASK yakubiddwa SK Rapid (2-0)
mu liigi ya Austria ku wiikendi. LASK tewangulanga ku ttiimu ya Bungereza ate Liverpool ewangudde 8 ku 10 eza Austria