OLUVANNYUMA lw'okukola erinnya mu World Cup bwe htuusa Cape Verde ku luzannya lwa ttiimu 32, ggoolokipa Vozinha eyandibadde awulira essanyu n'okukyenyumirizaamu ate kati talina mirembe.
Mu mpaka ezo, Vozinha (40) yafuuka muganzi olw'engeri gye yataasaamu ennyanda
naddala ku mupiira gwe baakola amaliri (0-0) ne Spain mu kibinja ne gwe baanyigiriza Argentina ne bagituusapaka mu peneti. Yafuna abagoberezi obukadde 30 ku mikutu gye egy'enjawulo. Wabula kati agamba ettutumu lya World Cup limumazeeko emirembe kuba kati takyasobola kutambulira mu bulamu bwe obwa bulijjo