Ebyemizannyo

Carrick by’alina okutereeza mu bwangu Premier

GGOOLO ey’ekyenkanyi ManU gye yakubye Fulham ng’omupiira guggwa, eyinza okuba nga yataasizza omulimu gwa Carrick.

Michael Carrick mu birowoozo. ManU erina obubonero 5 mu mipiira 5.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GGOOLO ey’ekyenkanyi ManU gye yakubye Fulham ng’omupiira guggwa, eyinza okuba nga yataasizza omulimu gwa Carrick.

ManU eba kukubwa, wiiki 3 ez’eggandaalo ng’abazannyi bali ne ttiimu z’amawanga gaabwe zandigenze okuggwaako nga Carrick mugobe. Bizibu ki ebigaanyi ManU okummuka?

Ttiimu tekyadduka ManU emanyiddwa mu misinde. Kino Carrick akimanyi bulungi kuba Sir Alex Ferguson yazimba ttiimu nga ya misinde. Nga bakola amaliri wiikendi ewedde, Fulhamn yabasinze kiromita mukaaga mu misinde.

Mu mipiira 5 egyakazannyibwa, ManU ya 16 ku ttiimu 20 mu kudduka. Ebalirirwa okudduka kiromita 111.9 buli mupiira. Arsenal esinga, eri ku kiromita 118.7 (esinga ManU kiromita 7 buli mupiira).

Amakkati ga Mainoo, Tielemans ne Bruno Fernandes tegasuubirwamu misinde mingi naye waakiri singa

omupiira gaguvuga ku sipiidi. Casemiro yali asooba naye ng’alaba mangu ebibangirizi n’abikubamu omupiira,

Tags: