ENKAMBI ya ManU yasiibye ku bunkenke eggulo, bwe kyawuliddwa nti abagagga baayo baabadde bakugoba omutendesi Michael Carrick obutasukka Lwakusatu.
Carrick, eyaliko ssita wa ttiimu eno, mu January yalondebwa ku butendesi bwayo
obw'ekiseera ate mu May ne bamufuula ow'enkakkalira ku ndagaano ya myaka 2 oluvannyumalw'okukola obulungi ng'asikidde Reuben Amorim.
Wabula sizoni eno, Carrick avuyizza nga mu mipiira 10 egya Premier akuhhaanyizza obubonero 8 ekirese ManU mu ky'e 17 ku ttiimu 20 nga liig bw'eggweera wano, esalwako.
Carrick asimattuse okugobwa enfunda eziwera nga wiiki ewedde, ManU yavudde emabega ggoolo 2 okuwangula Roma (3-2) n'awona sso nga ne ku Ssande, Aston Villa yagikulembedde emirundi 2 ne ggoolo 2 n'eziyunga ne balemagana (4-4) era n'awona.
Wabula eggulo lwonna, amawulire gaalaze nti nnaggagga wa ManU, Sir Jim Ratcliffe ne
Boodi baabadde baakusisinkana e Monaco mu Bufalansa bagobe Carrick.
Ensonda zaategeezezza nti eyaliko omutendesi wa Spurs nga kati atendeka Amerika, Mauricio Pochettino (54) y'asuubirwa okusikira Carrick. Pochettino, enzaalwa ya Argentina, amaze emyaka 8 nga ManU emwegwanyiza. Mu 2016, Sir Alex Ferguson yamusemba okutendeka ManU oluvannyuma lw'okusitula Spurs n'emalira mu kyokubiri mu Premier.
Embeera y'emu yakomawo mu 2018, Jose Mourinho bwe yagobwa ne baagala okumusikiza Pochettino kyokka omulimu ne guweebwa Ole Gunnar Solskjaer. Ono bwe agobwa, baali baagala Pochettino kyokka ate ne bakansa Erik ten Hag.