Emisinde
Mu basajja 800m Finals
Timothy Cheptoek yawangulidde Uganda omudaali gwekikomo ogwokusatu mu mbiro eza mmita 800 mu mizannyo gyabavubuka egya Youth olympic games mu kibuga Dakar ekya Senegal.
Cheptoek yakutte ekifo kyakusatu nga yamalidde mabega wa munnansi wa Eritrea Montary Ghebreab nowa Ethiopia Abebe Yomif eyawangudde omudaali gwa zaabu. Musaayimuto ono yaddukidde edakiika 1.51.59 nateekawo obudde obupya bwogerageranya ku budde bweyaddukiramu ku mutendera oguddirira ogwakamalirizo. Nga esigadde omukubdi gumu okutuuka ku kaguwa Cheptoek yabadde akyali mu kifo kyakutaano wabula yeesimatudde ku banne naafubutuka ekyaleetede abawagizi abaabadde mu kisawe okumukubira enduulu eyoluleekeleeke.
Omudaali gwa Cheptoek gwafuuse omudaali gwa Uganda ogwokubiri mu mpaka zabavubuka eza olympics nga ogwasooka gwali gwa silver nga wawangulwa Geoffery Balimumiti’s silver mu 2014 mu mpaka ezaali e Nanjing.
Munnauuganda omulala Baskaline Cherotwo yamalidde mu kifo kyakutaano mu mbiro eza mmita 1500 mu bakyala. Cherotwo yaddukidde edakiika 4.33.75 nga zino zaawanguddwa munnansi wa Ethiopia Amare Elsabet.

1. Cheptoek awangulidde Uganda omudaali
Omutendesi wemisinde ayogedde
Ziana Cheptoyek eyagenda nga omutendesi wa tiimu yabaddusi yatenderezza abaddusi olwomutindo gwebaayolesezza wakati mu musana ppereketya. “ ndi musanyufu nemidaali gyetufunye, abaana bano baayolesezza obuvumu obwekika ekya waggulu. Okuwangula ku lungi naye obutawangula bubayigiriza bingi era nkakasa bingi byebayize mu mpaka zino” omutendesi bweyagambye.
Uganda omugatte yawangudde emidaali esatu nga gyonna gyabadde gya misinde mu mmita 2000, 3000 nemmita 800. Emizannyo gikomekkerezebwa leero nomukolo oguggalawo ogugenda okubeera ku kisaawe kya Abdulwadde ekisangibwa mu kibuga Diamniadio.