Emisinde Sunday 6:20pm
Abakyala 2000m steeple chase final
Racheal ChelimoMonday
Abaami 2000m Steeplechase, Final 5:45pm
Michael KibetAbakyala 3000m Final, 6:03pmKeren ChelimoAbaami 800m Final, 7:10pmTimothy CheptoekOluvannyuma lwa Uganda okulemererwa okufuna omudaali mu mizannyo egyasoseewo kati abaakakwasizza abaddusi ba Uganda bataano abaasembyeyo okutuuka mu Kibuga Dakar emizannyo gyegiyindira.
Racheal Chelimo adduka embiro eza mmita 2000 ezokubuuka nga bwogwa mu mazzi ziyite steeple chase yagenda okusooka okudduka ku ssande eno mu kisaawe kya Iba Mar Diop Complex ekiri mu kibuga Dakar.

Tb 9
Chelimo yomu ku baddusi abataano abaasembyeyo okutuuka nga abalala kuliko
Michael Kibet (2000m) steeplechase, Keren Chelimo (3000m), Timothy Cheptoek (800m) ne Baskaline Cherotwo adduka mmuta 1500. Wabula omuwala ono abadde amanyiddwa kudduka mbiro eza mmita 3000 nga guno gwemulundi ogugenda okusooka okuvuganya mu mbiro eza mmita 2000. Mukwogerako naye yategezezza nga bwali omwetegefu okukiikirira Uganda mu mpaka zonna zebamuwa olwokutendekebwa kwabadde afuna e teryet nga tebannaba kujja mu mizannyo. Omutendesi wa tiimu yokudduka Ziana Cheptoek naye yakakasizza ebigambo bya Chelimo gwalimamu essuubi olwengeri gyabadde atendekebwamu. Omuvuzi wobugaali Ali Ssali naye ajja kuba mu nsiike ku ssande nga avuganya mu mutendera ogwa trial time mu kisaaw kya Corniche West.

Bannayuganda
ssali eyatambudde nomutendesi Ishak Bukenya yakoze bulungi mu mpaka zeyasembyeyo okuvuganyamu eza trial time championship ezaabadde mu kibuga Kisumu ekya Kenya.
Uganda yawandiisa abazanyi 25 okwetaba mu mizannyo musanvu wabula emizannyo okuli Rugby, Table tennis, Badminton, Rowing nokuwuga gyawedde Uganda eyanjala ngalo.