Mu kuwuga
Abasajja 50m Freestyle Heat 4/7
1. Ali Ali (BRN) 24:33
2. Peterson Inhensiko (UGA) 24:73
3. Ocean Campus (GUM) 24:75
Abasajja 50m butterfly Heat 3/6
1. Dikop Romos (SUR) 26:21
2. Ali Ali ( BRN) 26:30
3. Guimaraes Santiago (ANG) 26:87
4. Peterson Inhensiko (UGA) 27:33
Abakyaka 200m individual medley Heat 1/6
1. Chang Mohan (CHN) 2:20:23
2. Simcha Ofir (ISR) 2:27:52
3. Tan Yan Qing (MAS) 2:29:13
5. Mbanga Zara (UGA) 2:35:13
Munnayuganda Peterson Inhensiko yamalidde mu kifo kya kubiri mu mpaka z'okuwuga ezomutendera gwa 50m freestyle eziyindira mu kibuga Dakar ekya Senegal olunaku olweggulo. Inhensiko era yayongedde okukendeeza ku budde bwawugira kiyite personal best okuva ku 25:72 zazze awugira mu mutendera ogwo okutuuka 24:73 zeyawugidde eggulo.
Wabula yadde nga yakutte ekifo kyakubiri obudde bweyawugidde temwamusobozesezza kumalira mu bifo ebyeyongerayo ku mutendera oguddako.
Mu kuwuga okwomutendera gwa butterfly ogwa mmita 50 Inhensiko yamalidde mu kifo kyakuna nga yawugidde 27:33 namalira emabega wa Dikop Romos eyaziwangudde.
Inhensiko akomawo mu nsiike olwaleero nga waakwetaba mu kuwuga ogwa mmita 50 okwa backstroke.
Mu mpaka zabakyala eza mmita 200 ezomutendera gwa individual medley munnayuganda Mbanga Zara Marie yamalidde mu kifo kyakutaano oluvannyuma lwokuwugira edakiika 2:35:56. Mbanga yatandise bulungi na mu mmita 50 ezaasoose yabadde ali mu kifo kyakubiri wabula munnansi wa china Chang Mohan yamuyisseko embiro namusindika mu kyokutaano. Owobugaali nabaddusi bataka e senegal.
Olunaku olweggulo ekibinja kyabantu munana nga mulimu abaddusi bataano, omuvuzi wobugaali nabatendesi babiri baatuuse mu kibuga Dakar okwetegekera emisinde egitandika nga ennaku zomwezi 8. Bano kwabadd Baskaline cherotwo (1500m), Racheal chelimo (2000m) steeplechase chase, Keren Chelimo (3000m), Michael Kibet (2000m steeplechase) ne Timothy Cheptoek (800m).
Bano bazze nowobugaali Ali Ssali wamu nomutendesi wemisinde Ziana Cheptoyek.
Uganda yaakawangula emidaali 4 bukyanga etandika kwetaba mu mpaka zino mu mwaka gwa 2010 okuli ogwa zaabu gumu, ogwa silver gumu negyekikomo ebiri nga gyomma abaddusi bezazze bagiwangula.