Amawulire

EMPAKA z'abavubuka eza Youth Olympics Games zaatandikidde mu bbugumu e Daakar

EMPAKA z'abavubuka eza Youth Olympics Games zaatandikidde mu bbugumu mu gimu ku mizannyo egyagguddewo ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde mu kibuga Dakar ekya Senegal.

Omuwala ng'azannya Tennis
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

EMPAKA z'abavubuka eza Youth Olympics Games zaatandikidde mu bbugumu mu gimu ku mizannyo egyagguddewo ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde mu kibuga Dakar ekya Senegal.

Bannayuganda baabadde mu nsiike mu mizannyo ebiri okwabadde table tennis owa babiri ku babiri kiyite mixed doubles n'empaka zamaa eza Rowing.

Abazannyi ba Uganda

Abazannyi ba Uganda

Wabula Uganda tebyagitambulidde bulungi nga mu table tennis Joseph ssebatindira ne Jemima Nakawala baakubiddwa aba Tunisia Youssef Adli ne saidi Ela obugoba 3-0 nebawandukira ku mutendera ogwa round 32. 

Guno gubadde mulundi gwakubiri nga aba Tunisia bano bakuba ssebatindira nebabakuba Nakawala nga ogwasooka Bali mu mpaka za ANOCA ezaali mu kibuga Luanda ekya Angola omwaka oguwedde.

Mu table tennis owa singles munnayuganda Joseph ssebatindira yakubiddwa 
Zyworonek Patryk endala za Poland obugoba 3-1 ate mu bawala Jemima Nakawala nawangulwa 

Dem 87

Dem 87


Rajkoska Katarzyna nga naye nzalwa za Poland obugoba 3-1. Bano bakomawo mu nsiike Olunaku lwa leero nga betaaga kuwangula mizannyo gyebaaigazza okusobola okuva mu bibinja.
Mu muzannyo gwokuvuga amaato ogwa Rowing munnayuganda Marcel Otim Naye yawanduse nga Ono yamalidde mu kifo Kya 31 ku bavuzi 32 abaavuganyizza.
Mu muzannyo gwokuwuga Mary Peyton yavuganyizza mu mutendera gwa freestyle ogwa mmita 400 wabula naye tebyamutambulidde bulungi nga yakutte ekifo Kya munana oluvannyuma lwokuwugira edakiika 4:52:59. Ssuubi akomawo mu nsiike ku lwokusatu nga ajja kuba avuganya mu za mmita 100 eza breaststroke.
Mu muzannyo gwa Badminton mu bawala Ramiah Bukenya akubiddwa omumerika Micah Cruz obugoba 2-0 mu muzannyo oguguddewo ebibinja.
 Emizannyo gya Youth Olympics games, giyingidde Olunaku olwokubiri, bannayuganda bakyanoonya buwanguzi obusooka
Tags: