ABAKULIRA omupiira mu Portugal, omutendesi n'abazannyi ba ttiimu y'eggwanga balozezza ku maanyi ga Cristiano Ronaldo.
Mu mupiira ogusoose bukya awummula okuzannyira tiimu y'eggwanga, Portugal yatimpuddwa Denmark (4-1) mu maaso ga bannansi baayo, abasinga ne bakyuka ne bawagira abagenyi.
Omupiira guno ogwa UEFA Nations League, ogwabadde mu kibuga Braga, Portugal yaduumiddwa Bruno Fernandes owa ManU oluvannyuman wa kapiteeni omutongole, Bernardo Silva okusookera ku katebe.
Bannansi baatandikiddewo okuηηoola omutendesi Jorge Jesus, eyakulidde okusindiikiriza Ronaldo, kyokka mu ddakiika eya 43 beeyongedde nga Hojbjerg ateebedde abagenyi. Gwakyuse 1-0 era mu kitundu ekyokubiri, abawagizi battukizza buto okuηηoola Jesus ekyawadde Denmark amaanyi n'efuna ggoolo okuva ku Rasmus Hojlund (2) ne Joachim Andersen. Bernardo Silva, eyasikidde Bruno Fernandes, we yateebedde mu ddakiika ezongerwamu, ng'abawagizi tebakyayagala kumanya, bawuugula bazannyi na mutendesi. Oluvannyuma baatadde obubaka ku mitimbagano nti, "Denmark yaffe, Hojlund, mwebale
okutuwa ku ssanyu essanyu ffe abawagizi ba Ronaldo." Ronaldo 41, amaze emyaka
23 ku ttiimu eno n'agiteebera ggoolo 146 mu mipiira 234. Agiwangulidde Euro (1) ne UEFA Nations League (1).