Ebyemizannyo

Bannamateeka bawadde Gav't amagezi ku nkola y'amayumba

ABAKULEMBEZE b’ekibiina ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society basabye Gavumenti okuteekawo enkola ennambulukufu esobozesa Bannayuganda okufuna amayumba ag’omulembe ag’okusulwamu kino kibayambe okweyagalira mu nsi yaabwe.

Amyuuka Pulezidenti wa Uganda Law Society Isaac Asiimwe (wakati) oluvannyuma lw'okuteeka omukono ku ndagaano n'aba Pearl Marina Estate. Asooka ku kkono ye Arthur Isiko ate ku ddyo ye Sylvia Alal
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalist @New Vision

ABAKULEMBEZE b’ekibiina ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society basabye Gavumenti okuteekawo enkola ennambulukufu esobozesa Bannayuganda okufuna amayumba ag’omulembe ag’okusulwamu kino kibayambe okweyagalira mu nsi yabwe.

Bino byogeddwa amyuka ssentebe w’ekibiina kino Anthony Asiimwe ku lunaku lw’ebyemizannyo olwa Bannamateeka nga gwabadde ku Pearl Marina Estates e Galuga mu tawuni kkanso ye Katabi mu disitulikiti ye Wakiso.

Asiimwe yagambye nti okusoomozebwa okuli mu by’okuzimba kwa Uganda kunene ddala olw’ensonga nti okugula ettaka kwa bbeeyi ate nga n’ebizimbisibwa biriko omusolo munene ddala ekintu ekiremesezza abantu abawerako okufuna obusobozi okufuna amayumba amalungi webasula.

Mu ngeri yeemu Asiimwe yalaze obwetaavu bw’okulwanyisa obufere ku ttaka olw’ensonga Bannayuganda bangi bayita mu bugubi nebafuna ssente okubaako ettaka lyebagula ate ebiseera ebimu nebagwa mu bafere okukakkana nga bafiiriddwa.

Mu mukolo gwegumu ekibiina kya Uganda Law Society kyatadde omukono ku ndagaala n’aba Pearl Marina Estates okuyambako Bannamateeka naddala mu nsonga z’ebyettaka wamu n’amayumba.

Omukyala munnamateeka ng'atwala abasajja entyagi mu mupiira gw'ebigere

Omukyala munnamateeka ng'atwala abasajja entyagi mu mupiira gw'ebigere

Sylvia Alal okuva mu Pearl Marina Estates yasabye Gavumenti okufuna okulondoola era ekwate abafere abali mu by’ettaka kubanga tebakoma ku kufiiriza Bannayuganda, naye batattana n’ekifananyi kya Gavumenti.

Omuwanika wa Uganda Law Society  Isiko Arthur yasabye Gavumenti okulabira ku kkampuni ez’enjawulo eziteekawo enkola ng’omuntu asula mu nnyumba bw’asasula mu ngeri ey’ekibanjampola mpaka lw’eggwaayo nayo ezizimbe eziguze abantu mu mbeera eno bawone obupangisa.

Tags: