Ebyemizannyo

AKAVUYO MU BIKONDE;Batandiseewo ekiwayi ekipya okulwanyisa Muhangi

EMIVUYO mu bikonde bya Uganda gisitudde buto bwe wameruseewo ekiwayi ekiwakanya ekibiina ekituufu ekifuga ebikonde mu ggwanga ekikulirwa Moses Muhangi.

Moses Muhangi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EMIVUYO mu bikonde bya Uganda gisitudde buto bwe wameruseewo ekiwayi ekiwakanya ekibiina ekituufu ekifuga ebikonde mu ggwanga ekikulirwa Moses Muhangi.
Ekiwayi ekipya ekya Friends of Boxing (FOB) kikulirwa Hajji Yasin nga byombi n’ekya Uganda Boxing Federation (UBF) ekya Muhangi byalonze ttiimu z’eggwanga era ne zikiika mu mpaka ez’enjawulo ebweru w’eggwanga.

Ekya Muhangi nga kye kirina erinnya ettuufu erya ttiimu y’eggwanga (The Bombers), kyagendedde mu bbaasi e Kenya mu mpaka za Afrika eziri wansi wa Africa Boxing wansi wa World Boxing Council. Ate ekya FOB nga kiri wamu ne Uganda Professional Boxing Commission (UPBC) ‘ttiimu y’eggwanga’ eyaakyo yasitudde ku Ssande mu nyonnyi n’eyolekera DR. Congo mu mpaka za Afrika eziri wansi wa Confederation of Africa Boxing (AFBC) ne Internationation Boxing Federation (IBA).
Eya UBF yasimbuddwa ssaabawandiisi wa National Council of Sports (NCS), Dr. Patrick Ogwel nga yagendeddemu abazannyi 17 wansi w’omutendesi Lawrence Kalyango, ate FOB yatutte 9 n’abatendesi Mike Kizza ne Sam Rukundo.
Empaka z’e Kenya zaatandise October 15 nga ziggwa ku Lwakusatu nga October 28 sso nga ez’e DR. Congo zaatandise ggulo okutuusa nga November 1.
Ekyewuunyisa, empaka eya FOB mwe yagenze zikulirwa eyali pulezidenti wa IBA, Umar Kremlev enzaalwa y’e Russia, Muhangi gwe yakuutira ennyo akadingidi ng’atwala entebe.
Akavuyo kano kayolese n’obutakkaanya wakati w’ebibiina ebiddukanya ebikonde by’abayiga mu nsi yonna; World Boxing Council (WBC) ne International Boxing Association (IBA).
Dr. Ogwel yalabudde nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso. “Obuzibu bwe tulina mu bikonde buli omu ayagala kubeera pulezidenti, ekitasobooka. Tugenda kutandika okuluma era bangi amateeka gagenda kubakolako.”
Muhangi yagambye nti baagenze e Kenya kubanga z’empaka ezikola amakulu era nga ne NCS yabawabudde nti ze zisunsula abalyetaba mu mizannyo gya Olympics egya 2028

Tags: